• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabalabirizi Kazimba agguddewo ekanisa ya St. Mark Kikandwa – ezimbiddwa Gen.Katumba Wamala

Ssaabalabirizi Kazimba agguddewo ekanisa ya St. Mark Kikandwa – ezimbiddwa Gen.Katumba Wamala

December 3, 2023

Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao

March 6, 2026

MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga

March 6, 2026

Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo

March 6, 2026
Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

March 6, 2026
President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

March 5, 2026
Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

March 5, 2026
Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

March 5, 2026
Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

March 4, 2026
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

March 4, 2026
Obwakabaka bwa Buganda luzimbye oluzzi lwa Nnayikondo e Nnamaliiri – bayambiddwako aba Wells of Life

Obwakabaka bwa Buganda luzimbye oluzzi lwa Nnayikondo e Nnamaliiri – bayambiddwako aba Wells of Life

March 4, 2026
SC Villa Jogoo Ssalongo erangiridde akakiiko akagenda okulondesa obukulembeze obuggya – avuganya ku bwa president bwa Club wakusasula obukadde bwa shs 100 tezimuddizibwa

SC Villa Jogoo Ssalongo erangiridde akakiiko akagenda okulondesa obukulembeze obuggya – avuganya ku bwa president bwa Club wakusasula obukadde bwa shs 100 tezimuddizibwa

March 4, 2026
Bannyini bibanda bya mmotoka abazitundira ku nguudo balagiddwa okuziggyako bunnambiro – ekikwekweto kitandise

Bannyini bibanda bya mmotoka abazitundira ku nguudo balagiddwa okuziggyako bunnambiro – ekikwekweto kitandise

March 3, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ssaabalabirizi Kazimba agguddewo ekanisa ya St. Mark Kikandwa – ezimbiddwa Gen.Katumba Wamala

by Namubiru Juliet
December 3, 2023
in Amawulire
0 0
0
Ssaabalabirizi Kazimba agguddewo ekanisa ya St. Mark Kikandwa – ezimbiddwa Gen.Katumba Wamala
0
SHARES
132
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabalabirizi w’ekanisa ya  Uganda Rt.Rev. Dr.Steven Kazimba Mugalu akuuttidde aba Krisitaayo bonna obutalindanga nnaku nkulu okugenda mu masinzizo, wabula bagettanire bulijjo  nti kubanga lye kkubo erinabasobozesa okubeera abawanguzi munsi.

Ssaabalabirizi abadde ku kyalo Kikandwa mu Ggombolola y’eKasawo mu district y’eMukono bw’abadde aggulawo  ekaniisa  ya St. Mark Kikandwa,  ezimbiddwa  minister weby’enguudo mu Ggwanga Gen- Katumba Wamala,  wamu n’okwebaza mukama obulamu bwamuyisizaamu nga kwogase nookumutaasa abatemu abali bagenda okutwala obulamu bwe.

Mu June wa 2022 ku mukolo ogwategekebwa Gen.Katumba Wamala bweyali yebaza omutonzi  okumuwonya abatemu abaamukuba  amasasi,  ogwali e Kikandwa  mu gombolola ye Kasawo,  kweyatongoleza  okusonda ensimbi n’okutema evvunike ery’okuzimba ekanisa eno ogwakolebwa ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja .

Oluvannyuma lw’omwaka gumu n’emyezi 5, ekanisa ya St Mark  Kikandwa ewedde okuzimbibwa era  eguddwawo mu butongole Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda the Most Rt Rev Dr Steven Kazimba Mugalu.

Ssabalabirizi awerekeddwako  omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo, abalabirizi abalala abenjawulo, abaawule ,ba Canon nga bakulembeddwamu Owek. Canon Dr. Guster Lule Ntakke  n’abantu abalala bangi.

Wabaddewo omukolo ogw’okwebaza Katonda  olw’ebirungi byakoledde Gen Katumba Wamala    mu bulamu bwe, okusaako abaana 95 emikono,  ng’omukolo guno gukoleddwa omulabirizi w’Obulabirizi bwe Mukono Bishop Enos Kagodo.

Ssabalabirizi Kazimba  era asiimye Katonda olw’okulekawo Gen. Katumba agende mu maaso n’okumuweereza. “Abantu abamu Katonda abaleseewo olw’ekigendererwa naye temukozesezza mukisa ogwo gw’abeera abawadde. Gen. Katumba ogugwe agukozesezza ebirabwako”

.

Ssabalabirizi Kazimba era asabidde bazadde ba Gen. Katumba  okuli nnyina Dorothy Wamala ne taata Henry Wamala olw’okuzaala omwana afuuse omukisa eri Uganda n’agamba nti bano wadde baafa, naye ekifaananyi kyabwe kirabikira mu mwana wabwe.

Gen-Katumba Wamala Edward  mukwogera kwe kumukolo guno yebazizza mukama olw’okumuwa ekissa n’obuvumu nasobola okuzimba ekkanisa,  era neyebaza omutonzi olwokumuwonya abazigu yadde nga  muwala we yalugenderamu.

Ssentebe  wolukiiko oluteesiteesi oluzimbye ekanisa eno Owek. Canon Dr Guster Lule Ntakke yebaziza omutonzi abasobozesezza okuggusa omulimu ogwabakwasibwa.

Minister wa Buganda avunayizibwa ku by’obulambuzi ,embiri n’amasiro era nga yavunanyizibwa  ku by’obuwangwa n’ennono Owek.  Rotarian Wamala Anthony nga yakiikiridde Obwakabaka ku mukolo guno, yebaziza omulimu amakula Minister Gen. Katumba Wamala gwakoze mu kitundu kino ekye Kikandwa  kyagambye nti guleesewo  enkulakulana mu kitundu kino.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao
  • MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga
  • Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo
  • Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna
  • President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist