Sente akakadde ka shilling kamu (shs 1m ) akaayisibwa parliament okusalibwa ku musaala gwa buli mubaka okugenda mu nsawo ya Jacob Oulanyah Education Fund zitabudde ababaka, sipiika Anita Among yeyamye okuliyirira abatawagira nteekateeka eno.
Abakulembeze mu Acholi bebaatondawo ensawo okuyamba abaana ba Oulanyah n’abalala beyali aweerera.
Sipiika wa parliament Anita Among alagidde ababaka abatakiwagira okwewandiisa, sente zabwe azibaddize mu mpeke ng’akozesa sente ze ng’omuntu.
Ekiteeso kino kyaleetebwa minister w’omutonde bwensi Beatrice Anywar, ekyabuli mubaka okusalibwako shs akakadde kamu buli mwezi, parliament nekiyisa mu march wa 2022, bweyali ekungubagira eyali sipiika waayo Jacob Oualanyah.
Ku musaala gw’omwezi guno ogwa May, ababaka bonna 529 baasaliddwaako ensimbi akakadde kamu buli omu ,ekyalese ababaka abamu nga bakukuluma n’okukolima.
Anita Among abadde mu lutuula lwa parliament enkya yaleero, nakyomera ababaka bagambye nti tebalaze mazima nakamu.
Agambye nti bwebaba ssi bamativu bawandiike amannya gabwe ensimbi zabwe zibaddizibwe.
Asuubizza okusoma amannya gabwe mu lutuula lwa parliament ensi egamanye.
Wokorach Simon Peter omubaka wa Achwa abuulidde sipiika nti okwemulugunya kw’ababaka wadde tebasobola kukuleeta mu lwatu, nti naye sipiika akimanye nti buli wamu webabeera, mu nkuubo za parliament ku kantiini newalala waliwo abemulugunya.
Wabula abamu ku babaka betwogeddeko nabo bagamba nti ekiteeso kino ekya buli mubaka asalibweeko akakadde 1, kyayanjulwa minister omubeezi ow’amazzi n’obutonde bwensi Beatrice Anywar, nti naye engeri gyekyayisibwamu yebaleka sibamativu, nti kubanga tebaaweebwa mukisa ku kikubaganyako birowoozo.
Bagamba nti n’ekiseera mwekyaleetebwa ng’omugenzi yakafa nga bakyamukungubagira, tekyabawa budde kukola kusalawo kutuufu.