Speaker wa parliament Anitah Annet Among agobye omumyuka wa Ssabawolereza wa government Jackson Kafuuzi obutaddamu kuwabula parliament ku bbago oba etteeka lyonna erireetebwa parliament, mu kiseera kyonna kyanaabeera nga yakyali sipiika wa parliament.
Entabwe evudde ku kubbaluwa Kafuuzi gyeyawandiika ng’agamba nti yakakibwa Parliament okukkiriziganya nayo neyisa ebbago ly’etteeka erikangavvula abantu abenyigira mu mukwano gw’abantu ab’ekikula ekimu erya anti homosexuality Bill 2023.
Kafuuzi kigambibwa nti yasooka kuwandiikira president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni ebbaluwa ng’emulabula obutassa mukono ku bbago lino, nti oluvanyuma lw’okuzuula obuwaayiro obwenjawulo obwali bwetaaga okukolamu enongosereza, era nti neyewakana okuwagira okuyisa ebbago lino ng’agamba nti yakakibwa Parliament.
Bwabadde aggulawo olutuula lwa parliament Speaker Anitah Annet Among yennyamidde olw’ebigambo by’omumyuka wa Ssabaworereza wa government Jackson Kafuuzi, kyagambye nti ekikolwa kyeyakola kyakuweebuula Parliament n’okugiryamu olukwe.
Alagidde Ssabaworereza wa government Kiryowa Kiwanuka okubeerangawo buli wewanaabangawo okuyisa ebbago lyonna okwewala ebintu byakikula kino.
Ssabaworereza wa government Kiryowa Kiwanuka agezezaako okwetondera parliament olwekyo ekyakolebwa omumyukawe, wabula tekimatizza babaka nebasaba speaker ayite Jackson Kafuuzi yennyini yetondere parliament.
Kafuuzi mubigambo bye agambye nti byonna byeyakola yali atuukiriza buvunanyizibwa bwe, ekintu ekitanudde speaker okumulagira obutaddamu kubaako kuwabula kwonna kwawa Parliament ng’agamba nti tayinza kukolagana namuntu alya mululime nemuluzise.
Jackson Kafuuzi oluvanyuma lwa speaker okumulagira obutaddamu kuwolereza government mu nsonga z’amateeka, ayogeddeko ne bannamawulire n’akkiriza nti speaker alina obuyinza okusalawo kyonna, nti wabula wakufunayo akadde ayongere okwogeraganya naye n’okwongera okumunyonyola ekituufu kweyasinziirako okuwandiika ebbaluwa eyo okulabanga embeera edda mu nteeko.
Kafuuzi era atangaanziza nti singa teyakola kuwabula kweyakola eri omukulembeze weggwanga okukomyawo ebbago lino ebbago lino lyandibaddemu ebituli bingi ekintu ekyali wadde ekyanya abamenyi b’amateeka okwongera okwegiriisa.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka