Sipiika wa Parliament Anitah Annet Among avudde mu mbeera naagoba ababaka ba parliament bonna n’abakozi ba parliament abatuula ku bukiiko bubiri obwenjawulo abateetaba mu misomo egitegekebwa.
Abagobeddwa bebabadde batuula ku kakiiko ka Parliament akalondoola emirimu mu bitongole bya government n’akakiiko ka parliament akalondoola ensimbi z’omuwi w’omusolo mu bitongole bya government, abajeema nebatetaba mu musomo ogwali ogw’okubabangula mu nkola y’emirimu.
Abagobeddwa ku bukiiko buno bassiddwa ku bukiiko bwa parliamenr obulala ng’ekiboberezo olw’okwonoona ensimbi y’omuwi w’omusolo.
Omusomo guno gwaliwo okuva ng’ennaku z’omwezi 15 okutuuka nga 16 Omwezi February 2024, ku Imperial Golf view hotel e Entebbe.
Mu babaka n’abakozi abawera 90 abaali basuubirwa okwetaba mu musomo guno, 45 bokka bebagwetabako newankubadde nga Parliament yali esasulidde buli kimu kyebaalina okukozesa.
Sipiika Among agamba kino ekikolwa tekyali kyabwenkanya wabula kwonoona nsimbi yamuwi wa musolo.
Cue in…..Speaker Induction
SPEAKER AGOBYE ABABAKA.
CBS FM 88.8. 20th Feb 2024
Speaker wa Palamenti Anitah Annet Among avudde mumbeera nagoba ababaka ba palamenti bonna nabakozi ba palamenti abatuula kubukiiko bubiri okuli akakiiko ka Palamenti akalondoora emirimu mubitongole bya gavumenti naakakiiko ka palamenti akalondolo ensimbi zomuwi womusolo mubitongole bya gavumenti, abajeema nebatetaba mumusomo ogwaali ogwokubabangula Ssabiitii ewedde,nalagira bunambiro bassibwe mubukiiko bwa palamenti oburala ngekiboberezo olwokwonoona ensimbi yomuwi womusolo.
Omusomo guno gwaliwo ssabiitii ewedde okuva ngennaku zomwezi 15 okutuuka ngennaku zomwezi 16 Omwezi guno ku woteeri ya Imperial Golf view Entebbe ngawabula kubabaka neba staff 90 abaali basubirwa okwetaba mumusomo guno 45 bokka bebagwetabako newankubadde nga Palamenti yali yamazzzeda okusasulira buli kimu kyebalina okukozesa.
Kati bwababadde aggulawo olutuula lwa palamenti olwolunaku olwaleero Speaker Among agamba kino ekikolwa tekyali kyabwenkanya wabula kwonoona nsimbi yamuwi wamusolo.
Sipiika alagidde bunambiro ba Nampala b’ebibiina ebyenjawulo okukola enkyukakyuka mu babaka bano babateeke ku bukiiko obulala.
Akulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi abadde ayagala Sipiika wa parliament asooke awe omukisa ababaka bano benyonyoleko, n’asaba nti neba minisita abataagala kwetaba muntuula za Parliament nabo babonerezebwe.
Wano mbagirawo okusoma enkyukakyuka kutandise, era Nampala wa government Hamson Denis Obua asomye aba NRM abakyusiddwa, owa UPDF Charity Bayinebabo naasoma abamagye, ate Wilfred Niwagaba naasoma ababaka abatalina kibiina.
Abakyusiddwa bateereddwa ku bukiiko bwa parliament obwenjawulo okuli ak’eddembe lyobuntu, akakola ku nsonga zamukenenya,akakola kyabwenkanya, nakalondoola ebisuubizo bya government.
Aboludda oluwabula government tebakoze nkyukakyuka mu babaka babwe, Oluvannyuma lw’okutegeeza Parliament nti bakusooka batuule bekeneenye bulungi ensonga eno, n’okwongera okwebuuza kubakwatibwako ensonga.
Mu babaka abakyusiddwa kuliko omubaka wa Mityana North Kibedi Muhammad Nsegumire, owa Kigolobya county David Kalubanga , Nayigaga Mariam omubaka omukyala owa Namutumba district, Pasco Mbabazi owa Buwekula County n’abalala.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka