Omukwasi wa goolo munnayuganda Simon Tamale yegasse ku club ya Rayon Sport egucangira mu liigi ya babinywera eya Rwanda.
Atadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu ng’abacangira endiba okutandika ne season ejja.
Simon Tamale avudde mu club ya Maroons eya Uganda Premier League eyabadde eyagala okwongezaayo endagaanoye kyokka ne yelema.
Omuzannyi ono abadde nómutindo ogwawaggulu ddala season ewedde eya 2022/23, nga yamazeko emipiira 12 nga tateebeddwamu ,ate era nalondebwa ku bwa Man of the Match emirundi 7.
Simon Tamale era avuganya nabazannyi abalala 2 okuli Charles Bbaale owa Villa Jogo Ssalongo ne Milron Kariisa owa Vipers, ku ngule yómuzannyi asinze okucanga endiba season ewedde, nga omuwanguzi wakulangirirwa nga 06/07/23 ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Mu club ya Rayon Sport yegasse ku bannayuganda abalala abazannyirayo okuli Joackim Ojera ne Musa Esenu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe