Leero 21 March, lwe lunaku lw’ensi yonna olw’ebibira.
Olunaku luno lwagunjibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte mu 2013 n’ekigendererwa ky’okubunyisa enjiri y’okukuuma ebibira ebiriikiriza obutonde bwensi.
Abakugu bagamba nti ekibuguumirize ekicaase ensangi zino ne ppereketya w’omusana, ekimu ku kibireese kwekusaanyaawo ebibira.
Ebibira olw’okuba biba n’ebika by’emiti eby’enjawulo, biyambako mu kusengejja n’okukwata ebikkakka ebireeta endwadde wabula olw’okuba ebibira bingi bitemeddwa, ebikkakka biyitamu kyere.
Wano mu Uganda olutalo lw’okukuuma ebibira luzito ddala, era nga bingi bisaanyiziddwawo mu kusoosowaza enkulaakulana.
Ebifo bingi ebyalimu ebibira wazimbiddwawo ebibangirizi by’amakolero, wazimbiddwawo ennyumba z’abantu abalowooza nti ettaka likendedde n’ebirala.
Ebibira bitemwamu emiti omuva embaawo, okwokya amanda, enku n’ebirala.
Ku lunaku luno abantu basomesebwa engeri gyebayinza okutaasa ebibira ng’ebikolebwa mu miti bisikizaibwa ebintu ebirala ng’amasannyalaze n’ebirala.
“Simba omuti leero, weeyunge ku lutalo lw’okukkakkanya ekibuguumirize ekiyitiridde”
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K