Sheikh Muhammed Abasi Kirevu, nga abadde Imam wÓmuzikiti Tulcani ogusangibwa e Masajja mu division ya Makindye Ssabagabo akubiddwa amasasi agamuttiddewo mu maka ge enkya ya leero.
Abadde ku kyalo Katereke ekisangibwa mu gombolola ye Nsangi mu Town Council ye Kyengera mu district ye Wakiso. Kigambibwa nti musajja mukulu ono bamuttidde mu maaso gábaanabe , era nga abakoze kino bajjidde mu mmotoka ezakazibwako erya Drone. Meeya wa Town Council ye Kyengera Mathias Walukagga Mulumba , agambye nti embeera sheik ono gyettioddwamu yeraliikiriza, nti kubanga bwaba abadde alina emisango egimuvunaanibwa yandibadde asooka kutwalibwa mu mbuga zámateeka, okwongera okuggyayo obujulizi obwetaagisa.
Mu bbanga eryémyaka ekkumi egiyise ba sheik 10 bebakattibwa nga bakubwa amasasi, okuli Masoud Mutumba ábadde yakasembayo yattibwa mu maka ge agasangibwa mu district ye Iganga .
Abalala ye Sheikh Karim Sentamu, yattibwa mu mwezi gwókuna 2012, Abdul Kadir Muwaya naye yattiobwa mu maka ge e Mbale, Sheikh Abdulrashid Wafula yattibwa 2015, Sheikh Ibrahim Hassan Kirya naye yattibwa 2015 Sheikh Maj. Muhammad Kiggundu yattibwa 2016 mu bitundu byéMasanafu.
Alipoota ezikwata kukuttibwa kw aba sheik abo nókutuusa kati tezinafulumizibwa. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga akadde konna alindiriddwa okufulumya ekiwandiiko ekyogera ku mbeera yonna nga bwebadde ku ttemu erikoleddwa ku Sheikh Muhammed Abasi Kirevu.