Sheik Muhammad Galabuzi alangiriddwa nga supreme mufti omujja akulemberera e Kibuli, ngádda mu bigere bya sheik Kasule Ndirangwa eyalekeulira obukulu buno gyebuvuddeko.
Wakumyukibwa abantu babiri okuli Shiek Ibrahim Ntanda omumyuka asooka, ne Sheik Mahad Kakooza ye mumyuka owókubiri.
Akulira olukiiko lwába masheik e Kibuli Sheik abdulnoor Lunaanoba bwábadde alangirira abalangirira agambye nti abalondeddwa basuubirwa okulayizibwa ku lwókutaano lwa wiiki eno batandike obuweereza bwabwe.