Abazannyi ba tiimu ya Uganda ey’okubaka She Cranes 30, bebagenda okutendekebwa okwetegekera empaka za Commonwealth games ez’omwaka guno 2022.
Omutendesi wa tiimu eno Fred Mugerwa Tabale agambye nti Peace Proscovia yagenda okukuliramu ttiimu eno,wakumyukibwa Joan Nampungu.
Abazannyi abalala ye Nassanga Shadia, Recheal Nanyonga, Jesca Achan, Stella Oyella, Lillian Ajio, Mary Nuba, Nasaka Shakirah, Nakanyike Shakirah, Namutebi Rose, Nambirige Sandra n’abalala.
Ttiimu egenda kutandika okutendekebwa nga 25 May, ku kisaawe kya Kamwokya Community Sports Center.
Mu mpaka zino eza Commonwealth games,Uganda She Cranes yatekebwa mu kibinja B omuli n’abategesi aba Bungereza era bannantameggwa b’empaka ezasembayo mu 2018.
Abalala abali mu kibinja B mulimu New Zealand, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Malawi.
Mu kibinja A mulimu Australia, South Africa, Barbados, Jamaica, Scotland ne Wales.
Uganda mu mpaka zino egenda kuggulawo ne New Zealand nga 30 July,2022.
Empaka za Commonwealth Games zigenda kubeerawo okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August 2022.
Empaka zino zitegekebwa buli luvannyuma lwa myaka 4.
Ensi 72 ze zisuubirwa okuzetabamu n’abazannyi 5,054 nga bakuvuganya mu mizannyo 20.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe