Club ya She Corporates esitukidde mu liigi ya babinywera ey’omupiira ogw’ebigere ogw’abakazi eya FUFA Women Super League season ya 2021/2022.
She Corporates okutuuka ku buwanguzi egudde amaliri ga 0 – 0 ne Kampala Queens mu kisaawe kya MUBS e Nakawa.
She Corporates esubaganye ne Kampala Queens ku bubonero 39, wabula n’esinzako Kampala Queens enjawulo ya goolo 1 yokka.
Omuzannyi Phionah Nabumba owa She Corporates yalondeddwa ng’asinze okucanga endiba mu liigi, ateebye goolo 5 n’akola n’emikisa egivaamu goolo 8.
Fazila Ikwaput owa Lady Doves ne Nasuuna Hasifah basubaganye ku goolo 15 buli omu.
Daphine Nyayenga owa She Corporates yasinze okukwata goolo.
Club ya Rines SS yesinze okuba n’empisa mu liigi eno.
Abawanguzi aba She Corporates baweereddwa million 12, ow’okubiri Kampala Queens million 7.
Uganda Martyrs High School ekutte ekyokusatu egenda kufuna million 5, ow’okuna UCU Lady Cardinals obukadde 3 nabalala.
Omumyuka ow’okubiri owa president wa FUFA Darius Mugoye, yakwasiza abawanguzi ekikopo, nakakasa nti FUFA yakwongera okuteeka ssente mu mupiira gw’abawala.
Mugoye agambye nti abawanguzi ba liigi aba She Corporates bagenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Women Champions League.
Club ya She Maroons ne Tooro Queens zisaliddwako okuddayo mu kibinja kyawansi ekya FUFA Women Elite season ejja.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe