Bank ya Uganda enkulu efulumizza alipoota ekwata ku nsimbi eziweerezebwa okuyita ku ssimu eya mobile money, nga mu mwaka gwébyensimbi ogwa 2022/2023 trillion 191.3 eza shs zezaayitako.
Ennaku zómwezi 30th June, 2023, sente eziyita ku mobile money zaali zeyongedde okulinnya nébitundu 22.6%, okuva ku shilling trillion 156 mu June 2022 okutuuka ku shs trillion 191.3.
Abantu abakozesa mobile money webwatuukira nga 30th June, 2023 baali million 42.9.
Abantuabakozesa enkola za Bank agent nabo beyongedde nébitundu 29%, okuva ku shs trillion 9.7 mu June 2022 okutuuka ku trillion 12.5 mu June 2023.
Bisakiddwa: Ssebadduka Paul