Eggwanga lyolekedde okufiirwa ensimbi z’omuwi w’omusolo obuwumbi obusoba mu 50, government zeyawola ebibiina by’abakyala n’abavubuka okwekukakulanya wabula nga bakyalemereddwa okuzizaayo mu ggwanika ly’eggwanga.
Ensimbi zino zaayisibwa mu nteekateeka ya Uganda women enterprenuership program ( UWEP) n’ey’abavubuka eya Youth Livelihood program (YLP).
Alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo akakulemberwa omubaka wa Busiro East Owek Medard Lubega Ssegona eraze nti mu nteekateeka ya UWEP, yassibwamu obuwumbi 114 eri ebibiina by’abakyala 17,852, wabula obuwumbi 9 bukyabalemye okuzza.
ga kuzo ,obuwumbi 23 bwebwaalina okuzibwaayo eri eggwanga lyeggwanga ebibiina bino, wabula kuzo obuwumbi 23 bwokka bwebwazibwaayo ,obuwumbi 9 abakyaala ebibiina byabakyaala ebyazeewola bikyeeremye okuzizaayo.
Yo enteekateeka yabavubuka eya Youth Livelihoood Program, alipoota yakakiiko Kano aka PAC eraze, nti yassibwamu obuwumbi 169 eri ebibiina by’abavubuka 21,308, obuwumbi 38 abavubuka bakyaziremedde.
Ebibiina bino byonna eby’abavubuka n’abakyala bigamba nti byakosebwa omuggalo gwa COVID 19, era nti gwegwabalemesa okuzza sente ezo mu ggwanika ly’eggwanga.
Akakiiko ka parliament kagala ministry y’ekikula ky’abantu ekwatibwako enteekateeka zino ey’abavubuka n’abakyala, kakyuseemu mu nkola yokubanja nokununuka ensimbi zino yeyongeremu embavu n’omukono ogw’ekyuma.
Kinnajjukirwa nti mu alipoota nnyingi ezizze zikolebwa ku nteekateeka zombi, abamu kwaabo abazze bazifuna bagamba nti ensimbi zino baali bamanyi kasiimo akabaweebwa okubeebaza okulonda government eri mu buyinza, era nti baali tebamanyi nti zabaawolebwa nga zakuzaayo.#