Ekibiina ekiddukanya omupiira mu bitundu byóbuvanjuba n’amasekati ga Africa ekya CECAFA kitandise okwekennenya Rwanda ne Sudan ezitaddemu okusaba kwazo okutegeka empaka za Africa Cup of Nations qualifiers 2023 ezabazannyi abatasussa myaka 20.
Empaka zino zibadde zasembayo kutegekebwa Tanzania, Uganda yeyaziwangula.
Mu kiseera kino Uganda yakamala okukakasibwa okutegeka empaka za CECAFA Senior Women’s Championships, ezigenda okubeerawo okuva nga 22 May, okutuuka nga 5 June, omwaka guno.
Uganda esabye okutegeka empaka za Pan African School Cup.
Tanzania nayo etaddemu okusaba kwayo okutegeka empaka za Women’s Champions League qualifiers ezómutendera gwa zone.
Wabula tewali yasabye kutegeka mpaka za CECAFA Kagame Cup némpaka za CECAFA U23.