Ssaabakunzi wa NRM Rosemary Nnansubuga Sseninde alangiridde mu butongole nti akomawo okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala owa district ye Wakiso, ku kisanja eky’okuna.
Rosemary Sseninde yakiikirira Wakiso okumala ebisanja 3, okuva mu 2006 okutuuka mu 2021, lweyawangulwa munna NUP Betty Ethel Naluyima.
Sseninde asinzidde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakyala mu Wakiso, olubadde mu kisaawe ky’omupiira e Ntebbe.