Omusigire w’omusumba w’e Masaka Msgr Dominic Ssengooba ayogedde ku mugenzi Rev Dr Francis Xavier (FX) Mbaziira nti abadde ayagala nnyo eddiini ye, olulimi n’obuwangwa bwe bwonna.
Fr.FX Mbaziira n’olukiiko lweyali akulira lwerwakulembera enteekateeka eyamala emyaka 30, nga bakyusa bbayibuli okuva mu lungereza okugizza mu luganda.
Awandiise ebitontome bingi mu lulimi oluganda, ebiyigiriza, eby’essanyu n’eby’ennaku.
Asiimiddwa mu buweereza obwenjawulo, era yawandiikibwako ne mu kitabo ky’ensi yonna eky’ebyafaayo eky’abantu abakoze ebintu ebyensonga ekya international biographical centre, men of achieemnet mu 1980, ne Makerere University yamusiima olw’okukulakulanya n’okutumbula oluganda.
Rev. FR.Dr. FX Mbaziira yazaalibwa mu 1935 ku kyalo Kyakasalagga Bugere Mituba IX Kabira mu Buddu.
Bazadde be bebagenzi Silvest Ssenyonga ne Christina Nanziri.
Fr. Mbaziira w’afiiridde ng’abadde aweerereza mu kigo kye Kitaasa mu Bukomansimbi.
Wakuziikibwa mu limbo e Bukalasa mu Kalungu.
#