Ekkanisa ya Uganda eronze era neerangirira abalabirizi abaggya 3 okukulembera obulabirizi okuli Mukono, Karamoja, Muhabura ne North Kigezi.
Ssaabalabirizi Samuel Kazimba Mugalu ayanjudde abalabirizi abalondeddwa, mu lukiiko lw’abalabirizi olutudde e Lweza enkya ya leero.
Balonze Rev. Canon Enos Kitto Kagodo, okuba omulabirizi owokutaano owe Mukono ng’ono abadde avuganya ne Rev. Godfrey Ssengendo ku kifo kino.
Rev Enos Kagodo adda mu bigere bya Dr. James Ssebaggala agenda okuwummula obuwereza oluvanyuma lw’emwaka 13.
Olukiiko lw’abalabirizi era lukakasizza nti omulabirizi omulonde Kagodo waakutuuzibwa ku ntebe ng’omulabirizi nga 26 February omwaka guno 2023, ku kitebe ky’obulabirizi bwe Mukono mu lutikko ya St. Philip’s and Andrew’s e Mukono.
Rev. Enos Kagodo, yazalibwa nga 13th December 1968 mu ggombolola ye Nakisunga mu district ye Mukono.
Yayatula obulokozi nga 14 October,1994 natikkirwa obudiikoni mu June wa 2002, naayawulibwa mu December wa 2004, era mufumbo, Omukyala ye Catherine Namuddu.
Rev. Kagodo alina master’s degree mu by’ediini, degree mu by’okuddukanya amalwaliro n’ebitongole ebikola ku by’obulamu gyeyafunira mu Uganda Christian University, era alina diploma ne certificate ezenjawulo mu bukugu obutali bumu.
Rev. Enos Kagodo, okulondebwa ku kifo ky’omulabirizi nga y’abadde akulira ekitebe kyobulabirizi bwe Mukono muyite Provost wa lutikko ya St. Philip’s and Andrew’s Cathedral e Mukono, era yawerezaako ng’omusumba, ssabadiikoni era omukwanaganya weebyobulamu mu bulabirizi buno.
Mu ngeri yeemu ekanisa ya Uganda eronze Rev Onesimus Asiimwe okuba omulabirizi owomukaaga owa North Kigezi, era nga wakutuuzibwa nga 12 march 2023, ku mikolo eginaabeera ku lutikko ya Emmanuel e Kinyansano e Rukungiri.
Bishop omulonde Asiimwe Onesimus, yazze mu bigere bya bishop Benon Magezi eyafa mu 2021, yafa kirwadde kya Covid 19 mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Rev Asiimwe yazaalibwa nga 24 April 1965 ku kyalo Mparo mu district ye Rukiga. Yayatula obulokozi mu 1988, alina Master’s degree mu by’eddiini, degree mu byenjigiriza gyeyafunira ku Makerere university ne diploma mu byenjigiriza gyeyafunira ku National Teachers College e Kabale.
Rev. Asiimwe yabadde chaplain wa St Francis Chapel ku Makerere University, era abadde avuganya ne Rev Kenneth Kareija ku kifo kino.
Mungeri yeemu ekkanisa eronze Rev Canon Simon Akol Aisu, okuba omulabirizi ow’okubiri owa North Karamoja.
Wakutuuzibwa nga 12 February 2023, mu lutikko ya Christ Church e Kotido era yagenda okuddira Bishop James Nasak mu bigere omulabirizi eyasooka mu bulabirizi buno eyatuuzibwa mu 2007.
Rev Canon Aisu okutuuka okulondebwa yabadde amyuka dean wa lutikko ya Christ Church cathedral esangibwa e Kotido.
Rev.Aisu Awerezzako mu bifo ebyenjawulo mu bulabirizi bwe Karamoja ne North Karamoja nga ssabadiikoni, principal wettendekero lya banna diini, era omuwandiisi w’obulabirizi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis