Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The most Rev Dr. Samuel Kazimba Mugalu, atuuzizza Rt Rev. Canon Jacob Ateirweho, ng’omulabirizi owomukaaga owa Bunyoro Kitara.
Omukolo gukoleddwa mu lutuula olw’enjawulo olubadde ku lutikko ya St. Peter’s Cathedral, mu kibuga kye Hoima.
Rt Rev. Canon Jacob Ateirweho, addiridde Rt. Rev. Samuel Kahuma Abwooli abadde omulabirizi owokutaano, oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 egyokuwummulirako, era amaze emyaka 8 ngawereza mu bulabirizi buno.
Ssaabalabirizi Kazimba, agambye nti ekkanisa eyita mu kusoomozebwa okw’amaanyi olw’abantu okukulembeza embeera eyookweyagaliza, nga kyenyamiza nti abalaabirizi abasinga abaliwo bagenda kuwummula.
Ssabalabirizi Dr Stephen Samuel Kazimba Mugalu, agambye nti ekkanisa essira egenda kuliteeka ku nkulaakulana ey’olubeerera era nga kuno kwekumu ku kusalawo olukiiko lw’abalabirizi lwekwakoze, mu lutuula olw’abalabirizi olw’okwefumintiriza ku buweereza.
Ssaabalabirizi era asoose kukubisa Rt Rev. Canon Jacob Ateirweho ebirayiro ebyenjawulo, n’asuubiza okulwanyisa emize gyonna egikontana n’enjigiriza ye kanisa, omuli ebisiyaga, enguzi n’ebirala.
Ssabalabirizi Kazimba avumiridde ebikolwa ebyokuwamba abantu, n’asaaba government abantu bonna abazze bakwatibwa mu kwekalakaasa n’ensonga z’ebyobufuzi nti basimbibwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.
Bishop Nathan Ayimbisibwe omulabirizi wa South Ankole, nga yaakulembeddemu okubulira mu kusaba kuno, asabye abaweereza okunywerera ku mazima, nokulemera ku byebakola bwebaba bakubifunamu.
Ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja Musaafiri, nga yakikiridde president Museveni ku mikolo gino, asanyukidde ekkanisa ku buvumu bweyolesa mu kukwasizaako eggwanga mu kuzimba amasomero, amalwaliro, okuwa abavubuka emirimu n’enteekateeka endala ez’enjawulo era nawanjagira ekkanisa okwongera okukunga abantu okuwagira enteekateeka za government zonna ezireetebwa.
Rev. Canon Jacob Ateirweho, yazaalibwa nga 24th August 1968 mu ddwaliro ekkulu e Hoima mu district yeemu eye Hoima.
Aweerezza ekkanisa n’omukama okuva nga 5 April, 1991lweyayatula obulokozi.
Yakakasibwa ng’omudikoni nga 5 February, 2006, naayawulibwa nga 23 July 2006, era musajja mufumbo ne maama Irene Kobusinge, balina abaana 5.
Rev Canon Jacob Ateirweho alina degree mu by’eddiini gyeyafunira ku Uganda Christian University, era yaabaddde Vicar wa lutikko ya All Saints Church, e Hoima mu bulabirizi bwa Bunyoro Kitara.
Bisakiddwa: Ddungu Davis