Omumyuka asooka owa ssaabaminisita w’eggwanga era eyali sipiika wa parliament eye 10, Rebecca Alitwala Kadaga,atenderezza emirimu egyakolebwa eyamuddira mu bigere Jacob Oulanyah.
Amwogeddeko ng’omukulembeze eyalina obukugu obwenjawulo mu kunoonyereza ku nsonga.
Rebecca Alitwaala Kadaga obubaka bwe obusiima omugenzi Oulanyah, abuwandiise mu kitabo ekyatekebwa ku parliament, abakungubazi mwebawandiika obubaka obwokusaasira n’okukungubaga.
Kadaga agambye nti ekiseera Oulanyah weyabeerera omumyuka we mu parliament eyomwenda ne 10 wakati womwaka 2011 okutuusa 2021, yamuyamba nnyo mu kutambuza emirimu gya parliament, olwobukugu bweyalina mu kunoonyereza ku nsonga ez’amateeka nebirala.
Kadaga agambye nti Oulanyah era yali mujjumbize mu mirimu gyonna parliament gyeyamutumanga, era yonna gyeyakiikiriranga parliament ebibala ebyavaayo byeyogerera.
Kadaga okuva lweyava ku kifo kya sipiika mu mwezi ogw’okutaano omwaka 2021, Jacob Oulanyah mweyamuwangulira akalulu ka sipiika,olwaleero lwasoose okuddamu okulinnya ku parliament oluvannyuma lw’emyeI kkumi.
Nebweyali asunsulwa ku kifo ky’omumyuka asooka owa ssaabaminisita, Kadaga yayitira ku mutimbagano ku nkola eya Zoom, ku parliament teyalinnyayo.