Eyaliko omumyuka w’omukulembeze weggwanga nga kati ye muwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ku nsonga z’obutonde bwensi Prof. Gilbert Baalibaseka Bukenya azudde ebyapa ebipya 8 ebyasalwa mu kibira kya government ekye kitubulu Forest Reserve era alagidde bisazibwemu mu bwangu.
Ebyapa bino Prof Bukenya abizudde mu kulambula kwabaddeko nabakungu okuva mu kitongole ky’ebibira ekya National Forestry Authority NFA, ne ministry okuwuliriza okwemulugunya kw’abatuuze nga bagamba nti ekibira kino kiriko abantu abaakyegabanya.
, Prof Bukenya asinzidde mu lukungaana lw’abamawulire okutudde ku Katomi Kingdom Resort e Garuga Ntebbe, nategeeza nti azudde ebyapa 3 nga bya Kampuni eya Mega industries,ekyapa ekya David Hood Mpiji,Deborah Mbabazi,Mulikin Entereprises, New Nodic Ltd saako nekya Kampuni ya Tipple Sound Investment ngeno yesinga okubaako nekifo ekinene kya yiika ezisoba mu 110 kwezo e 125 ekibira kino kwe kitudde.
Bukenya agamba ebyapa bino byonna biteekeddwa okusazibwamu.
Ssenkulu w’ekitongole ky’ebibira byonna mu ggwanga Tom Obong Okello agamba nti ebyappa bingi ebizze bisazibwamu nga byali byagabwa ku ttaka ly’ebibira, era ensonga z’ebyapa mu kibira kino ekye Kitubulu nazo bazitegeera era baliko webatuuse nga bazitambuza.
Okulambula kino kwetabiddwa mu abamu ku bataka n’abatuuze nga bakulembeddwa omubaka wa Parliament owekibuga Ntebe Micheal Kakembo Mbwatekamwa era basiimye enkola etandikiddwa Prof. Bukenya, nebamuwa amagezi obutesigama nnyo ku bakungu ba government, naye yeyambise nnyo abakulembeze b’ebitundu okuzuula ebituufu.
Ekibira kye Kitubulu kyakubiri okuzuulwamu ebyapa mu bitundu ebye Ntebe, era ng’ebisinga obungi by’abakungu mu government ya Uganda.
Bisakiddwa: George William Kakooza