President Yoweri Kaguta Museveni agobye abakulira KCCA, okuli ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka, omumyuka we Eng.David Luyimbaazi n’akulira eby’obulamu mu KCCA Dr.Daniel Okello, olw’okulagajjalira omulimu gwabwe ekyaviirako kasasiro okubumbulukuka e Kiteezi n’atta abantu abasoba mu 35.
President mu ngeri yeemu alagidde akakiiko ka government akagaba emirimu aka Public Service Commission okulanga ebifo bino abantu abalina ebisaanyiizo by’ebifo bino basabe emirimu egyo, mu bbanga eritasussa myezi 3.
Alagidde ne minister wa Kampala okuwaayo amannya g’abakozi abayinza okugira nga baweereza mu bifo bino.