
Bya Lubega Mudashiru
President wa Rwanda Maj Gen Paul Kagame kyaddaki atuuse mu Uganda, oluvanyuma lw’okumala ebbanga eriwerako nga yazira okulinnya mu Uganda kati emyaka gisoba mu 4, ng’ajirumiriza okumusekeeterera.
Kagame yategeeza nti bannansi ba Rwanda bangi bazze bakwatibwa mu Uganda, n’ebasibibwa mu makomera ate nebatatwalibwa mu mbuga za mateeka kuvunanibwa.
Mu mbeera eyo Kagame yaggalawo ensalo zaayo ne Uganda okumala emyaka esatu, nga agamba nti Uganda erina byerina okuteereza okuzzaawo enkolagana.
Ensisinkano eziweerako wakati w’abakulembeze b’amawanga gombi Museveni ne Kagame zibadde zituula okumalawo embeera eyo, saako n’ababaka abenjawulo ababadde batumibwa okutuusa obubaka buli lwekibadde kyetaagisizza.
Okusinziira ku mwogezi w’amaka ga president Linda Nabusaayi, President Museveni yeyayise Kagame ng’omugenyi we ow’enjawulo.
Basisinkanye mu state house e Ntebbe okwongera okuzaawo obwaserunga.
Mu nsisinkano yabwe boogedde ku mbeera y’obutebenkevu bw’amawanga gombi, n’ekitundu kyonna eky’obuvanjuba bwa Africa.
President Museven agambye nti amawanga gano galina okukwatizaako Democratic Republic of Congo eddemu emirembe.
Mu ngeri yeemu Kagame akinogaanyizza nti abakulembeze mu DRC bebalina okusinga okwetigga omugugu gwabwe, nga bayita mu kukwogeraganya n’enjuuyi zonna ezikwatibwako okuzza emirembe n’okusaawo enkulakulana eyetaagisa mu nsi yabwe.
Emikolo gino gyetabiddwako ne minister w’ebyenjigiriza era muka president Janet Kataha Museven, n’owobutebenkevu Jim Muhwezi n’abalala.