Omukulembeze wa Rwanda Paul Kagame akyakalambidde ku byókuggula ensalo zéggwanga lye ne Uganda, ngágamba nti abannyarwanda abayingira mu Uganda bakyagenda mu maaso nókutulugunyizibwa, ekiraga nti Uganda ekyalina akakuku kanene ku ggwanga lye.
Kagame asinzidde ku mukutu ogwa Aljazeera, nagamba nti wadde nga wabaddewo enteeseganya emyaka egiyise zebabaddemu ne mukulu munne owa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museven, tewanabaawo ssuubi lyakutuuka kukukkaanya, era nti abanyarwanda abayingira mu Uganda bayisibwa bubi so nga bannauganda abagenda mu Rwanda bbo tebalina kibakolebwako.
Kagame agambye nti ngébyo byonna bikyagenda mu maaso, simwetegefu kuggulawo nsalo wadde ngébyóbusuubuzi wakati wénsi zombi bikoseddwa.
Minister wa Uganda akola ku nsonga zénsi endala Okello Olyemu ategezezza nti CBS agambye nti gavumenti ya Uganda yo ekyalina esuubi nti enteeseganya zakugenda mu maaso buli ludda lwongere okutegeera lunaalwo, batuuke ku nzikiriziganya.
Wasigaddeyo emyezi esatu okuwera emyaka esatu bukyanga Rwanda eggala nsalo ye Katuna nga 27.02.2019, bweyategeeza kwolwo nti egenda kuddabirizibwa, era emmotoka ezitambuza ebyamaguzi zaalagirwa okukozesa ensalo ye Mirama hills e Ntungamo ne Kyanika e Kisoro, ekyaleetawo akalippagano kébidduka okumala ekiseera, wabula oluvannyuma nazo zaamala neziggalibwawo.
Rwanda yalabula bannansi baayo abayingira Uganda okubeera abegendereza,nga gavumneti yaayo erumiriza Uganda okukwata bannansi baayo nebaggalira mu bifo ebitamanyiddwa.
Okuva olwo enteeseganya ezenjawulo zibadde zituuzibwa wakati wa president Yoweri Kaguta Museven owa Uganda ne Paul Kagame owa Rwanda nga zikubirizibwa president wa Angola Joao Lourenco nówa DRC Felix Tshisekedi, nénteesaganya endala ezibadde zikolebwa abakungu abamadaala agawansi abakwatibwako ensonga.
Wabula nókutuusa kati tewali kalungi kavuddemu.