Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine agguddewo ofiisi z’ekibiina kya NUP mu bitundu bye Kalagi ng’ayolekera ekitundu kye Mukono, naalabula banna kibiina kino obutava ku mulamwa.
Kyagulanyi ssentamu agguddewo ofiisi zino wakati munkuyanja y’abantu ababadde bamulindiridde mu bitundu bye Kalagi.
Mungeri yeemu alabudde abavubuka abamugoberera obutenyigira mubikolwa bimenya mateeka wabula basigale ku mulamwa.
Kyagulanyi Ssentamu yeyongeddeyo mu district ye Mukono gy’abadde alina okuggulawo offiisi y’ekibiina mu kibuga kye Mukono wakati, wabula ab’enyokwerinda tebamuganyizza, nga bagamba kibadde kyakutaataaganya emirimu n’entambula y’ebidduka.
Olukungaana alukubye mu kisaawe kya Ntaawo grounds, ewakungaanidde ebikumi n’ebikumi by’abawagizi, era gyategeerezza nti district ye Mukono yeyasinga okuwambibwamu abawagizibe ekigendererwa eky’okubamalamu amaanyi.
Abagambye nti bingi byakwongera okubakolebwako omuli n’okugulirirwa ensimbi, nti naye tebasaanye kwerabira ekigendererwa eky’okukyusa eggwanga.
Akulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi avumiridde eky’abakuuma ddembe okubalemesa nga enteekateeka zabwe ng’ekibiina ate nga abantu abalala banna byabufuzi betaaya.#