Akulira ekibiina ky’eby’obufuzi ekya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine asabye abakulembeze ne bannakibiina okwewala okwawulayawula mu bantu, kasita babeera ku mulamwa gwa NUP ogw’okukyusa obukulembeze bwe ggwanga mu mirembe, nebwebabeera nga ssi banna NUP.
Kyagulanyi abadde ku Kyalo Nkalwe Nkoni mu district ye Lwengo.
Abadde yetabye mu kuziika Bonny Steven Kasujja, abadde akulira NUP mu kitundu kya Nyendo Mukungwe Masaka City.
Kyagulanyi oluvudde e Lwengo, akulira oludda oluwabula government mu parliament era omubaka wa Nyendo Mukungwe amulambuzza Masaka City n’okuwuubirako ku bantu ababadde bakwatiridde mu kibuga Masaka.#