Police n’abawagizi ba National Unity Platform balidde matereke bw’ebadde eremesa President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu okutuuka mu district ye Kamuli ewabadde wategekeddwa olukungaana lw’okukunga abawagizi.
Ab’ebyokwerinda obwedda batadde zi kabangali zabwe ku lutindo lwe Jinja era Kyagulanyi ne banne babadde bakatuuka ku lutindo luno, omukka ogubalagala gutandikiddewo okumyooka.
Ssenyonyi oluvanyuma lw’okuwanyisiganya ebisongovu ne police nga yemulugunya olw’okubakubamu omukka ogubalagala ng’ate babadde batambula mu mirembe, emaze n’ekkiriza Kyagulanyi nebanen nebayita ku lutindo neboolekera e Kamuli, wabula tebaganyizza kutuuka mu kifo ewabadde wagenda okubeera olukungaana.
Wabula Kyagulanyi ssentamu abasuubizza nti bakugenda mu maaso n’enteekateeka zabwe ez’okusaaggulira ekibiina kyabwe obuwagizi okwetoloola eggwanga lyonna.