Omukulembeze w’e kibiina kya National unity platform Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde abavubuka b’ekibiina kino okwekubamu tooki babeere n’empisa, n’abagamba nti empisa embi zisusse okubavumaganya.
Abajjukiza nti bingi byebakoze ebyabaleetera abantu okubakkiririzaamu, nti ate mu ngeri yeemu byebakoze bingi okubavumaganya ebiyinza n’okuviirako abantu okukyawa ekibiina kyabwe, n’abalabula nti beddeko.
Kyagulanyi agambye nti buli mujjiji gusaanye okuzuula omulamwa gwagwo, era kisigalire eri abo buli omu okugussa mu mu nkola oba okwesuulirayo ogwa naggamba.
Kyagulanyi Ssentamu abadde ayogerako eri abavubuka ku kitebe ky’ekibiina kye e Makerere Kavule.
Lubadde lukungaana lw’abavubuka b’e kibiina kya NUP abeyita ba foot soldier.
Kyagulanyi agambye nti abavubuka okuva mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo balina okulwanyisa ekibba ttaka, okutulugunyizibwa wamu n’okukola ku nsonga ezibagattira awamu sosi ezibaawula.
Ajjukizza abantu okusingira ddala abavubuka nti ekiseera kye kino okutwala obuvunanyizibwa okwekolera ku nsonga zabwe.
Anokoddeyo eky’okutandikawo ebibiina byobwegassi wamu nebyo ebirwanirira eddembe lyabwe, nga banunula banabwe abasibwa obwemage wamu naabo abatalina bazadde nga battibwa.
Olukungaana luno lwetabiddwamu abakulembeze.ba NUP abalala bangi aboogeddeko gye bali.#
Bisakiddwa: MK Musa