President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni adiddemu eyali omutesiteesi omukulu mu ministry ya government ez’ebitundu John Muhanguzi Kashaka n’omugenzi Henry Bamutura eyali ow’ebyensimbi naabawa ekisonyiwo, oluvannyuma lw’emyaka 10 nga battuunka n’omusango ogw’okudiibuuda n’okufiiriza government obuwumbi bwa shs 4.2, ezaali ez’okugulira ba ssentebe b’ebyalo eggaali zi maanyi ga kifuba.
Ekiwandiiko ekifumiziddwa omumyuka wa Ssenkulu w’ekitongole ky’amakomera Moses Ssentalo kitegeezezza nti oluvannyuma lw’ekisonyiwo kino, John Muhanguzi Kashaka ayimbuddwa addemu alye butaala.
Kooti ewozesa abakenuzi n’abalyake yabasingisa omusango gw’obukenuzi mu mwaka 2014, nebasalirwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 10 n’okuliwa ensimbi.
Wabula baajulira mu kooti ezaawaggulu nazo ezaayongera okunyweza ebibonerezo byabwe mu 2019 mu kooti ejulirwamu, ne mu October,2023 kooti ensukkulumu nekola kye kimu.
President Museven wabasonyiyidde, nga Kashaka ekibonerezo kye babala nti abadde yakakitambulako emyaka 5, emyezi 2 n’ennaku 9.
Bisakiddwa: Betty Zziwa