President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa azziizaayo empapula ku kitebe kya NRM ku Kyadondo Road mu Kampala, naakakasibwa ku bwa ssentebe bwa NRM nga tavuganyiziddwa, n’okukwatira ekibiina bendera mu kalulu akajja 2026..
Mwami Museveni alaangiriddwa ssentebe wa k’akakiiko kokulonda mu NRM Dr.Tanga Odoi.
Bw’abadde.eyogerako eri abawagizi b’ekibiina kye President Museveni abaanjulidde ensonga 6 kwagenda okutaambuliza akalulu akajja.
1- Okukuuma emirembe: nga tewali ntalo n’obumenyi bw’amateeka
2-Okutondawo emirimu
3- Okutumbula ennyingiza mu maka
4-Obutale
5 – Okusitula emirimu egy’enjawulo, omuli ebyenjigiriza, eby’obulamu, ebya woteeri n’ebirala
6- Enkulaakulana y’eggwanga
Agambye nti bino byonna okutuukirizibwa, tagenda kugumiikiriza balya nguzi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa.