President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mutaka mu ggwanga lya Serbia ku bugenyi obutongole bwagenda okumalako ennaku ebiri, okubaga entegeka ku ngeri Uganda gyesobola okukolagana ne Serbia okutumbula embeera z’abantu.
President Museven avudde Russia mu lukungaana lwa mawanga ga Africa olwa Russia – Africa Summit, n’ayolekera Serbia.
Museveni asisinkanyeemu mukulemebeze munne owa Serbia Ivica Dacic Aleksandar, minister we ensonga za mawanga amalala Dragan Zupanjevac ,omubaka wa Uganda e Serbia Ambassador Charles Ssentongo n’abakulu abalala.
Agenze n’abakulu mu kitongole Kyabannekolera gyange ekya private Sector Foundation Uganda ne bitongole ebirala okubaako endagaano ezikolebwa n’abakungu mu Serbia ezisaawo enkolagana mu by’obusuubuzi n’ebyobulambuzi.
President Museveni e Serbia era atambudde ne minister omubeezi avunanyizibwa ku ensonga zensi enddala Okello Oryem ne mutabani we era omuwabuzi we ku nsonga ez’enkizo Gen Muhoozi Kainerugaba nabakulu abalala.
Bisakiddwa: Lubega Muda