• Latest
  • Trending
  • All
President Museven beyalagira okufuna ku ttaka ly’eggaali y’omukka tebaalifuna – parliament eragidde kaliisoliiso wa government anoonyereze ku bekomya ettaka eryo

President Museven beyalagira okufuna ku ttaka ly’eggaali y’omukka tebaalifuna – parliament eragidde kaliisoliiso wa government anoonyereze ku bekomya ettaka eryo

April 13, 2022
Prof.Livingstone Luboobi eyali  Vice Chancellor wa Makerere University kitalo -1944 -2025

Prof.Livingstone Luboobi eyali Vice Chancellor wa Makerere University kitalo -1944 -2025

July 16, 2025
Abaaniriza abagenyi mu Buganda babanguddwa ku ngeri y’okwongera obukugu mu mulimu gwabwe nga bettanira enkola za technology

Abaaniriza abagenyi mu Buganda babanguddwa ku ngeri y’okwongera obukugu mu mulimu gwabwe nga bettanira enkola za technology

July 16, 2025
Parliament etandise okunoonyereza ku mutemwa gw’ensimbi omutuufu Obwakabaka bwa Buganda bwegubanja Government ya Uganda

Parliament etandise okunoonyereza ku mutemwa gw’ensimbi omutuufu Obwakabaka bwa Buganda bwegubanja Government ya Uganda

July 16, 2025
 Omutendesi wa Ssingo Hamuza Lutalo asuddewo omulimu –  tenawangulayo mupiira mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2025

 Omutendesi wa Ssingo Hamuza Lutalo asuddewo omulimu – tenawangulayo mupiira mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2025

July 16, 2025
Abdallah Mubiru aweereddwa endagaano ya myaka 2 ng’atendeka Gaddafi FC

Abdallah Mubiru aweereddwa endagaano ya myaka 2 ng’atendeka Gaddafi FC

July 16, 2025
Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa

Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa

July 16, 2025

DP ewezezza abantu 68 abagala okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament – abakulira eby’okulonda mu DP bagamba omuwendo gukyali mutono

July 15, 2025
Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza

Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza

July 15, 2025
Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa  Buddu CBS PEWOSA Sacco

Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa Buddu CBS PEWOSA Sacco

July 16, 2025
Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

July 15, 2025
Government ya Uganda efulumizza trillion 17 okuddukanya emirimu gyayo mu kitundu ekisooka  eky’omwaka gw’ensimbi 2025/2026

Government ya Uganda efulumizza trillion 17 okuddukanya emirimu gyayo mu kitundu ekisooka eky’omwaka gw’ensimbi 2025/2026

July 15, 2025
Gomba eronze Simon Gita ng’omutendesi wa ttiimu y’essaza ow’ekiseera – oluvannyuma lwa Simon Ddungu okusuulawo omulimu

Gomba eronze Simon Gita ng’omutendesi wa ttiimu y’essaza ow’ekiseera – oluvannyuma lwa Simon Ddungu okusuulawo omulimu

July 15, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Features

President Museven beyalagira okufuna ku ttaka ly’eggaali y’omukka tebaalifuna – parliament eragidde kaliisoliiso wa government anoonyereze ku bekomya ettaka eryo

by Namubiru Juliet
April 13, 2022
in Features, News
0 0
0
President Museven beyalagira okufuna ku ttaka ly’eggaali y’omukka tebaalifuna – parliament eragidde kaliisoliiso wa government anoonyereze ku bekomya ettaka eryo
0
SHARES
119
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Joel Ssenyonyi Omubaka wa Nakawa West era ssentebe wa COSASE

Ebitongole okuli nebya government ebyalina okuweebwa ettaka mu bitundu bye Nsambya ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka ki Uganda Railways Corporation kizuuliddwa nti tebyalifuna, wabula ate lyawebwa kampuni z’abantu kinnomu.

Wabula kampuni ezo ezawebwa ettaka eryo, tezaali ku lukalala lwa president Museven lweyali alagidde akakiiko kebyettaka okuwa ettaka.

Bino birabikidde ku alipoota yakakiiko ka COSASE akakulemberwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi essomeddwa mu parliament, eyavudde mu kwekeneenya engeri ettaka lyekitongole kyegaali y’omukka gyeryatwalibwamu.

Enyonyodde nti President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yawandiikira akakiiko k’eggwanga ek’ebyettaka okubaako yiika z’ettaka 32, zeyalagira ziweebwe ebitongole  ebitali bimu.

Ebitongole bino kwaliko National Library, Nakawa Disabled Voctional Training Institute, Ekanisa ya Uganda n’ebirala.

Alipoota eraze nti ate ensobi endala eyakolebwa’akakiiko kano aka Uganda land Commission,yeyokugaba yiika z’ettaka 72, mu kifo kya yiika 32 ezaabalagirwa.

Okusinziira ku alipoota yakakiiko ka Cosase eno, University ya Kampala International University eya Basajjabalaba yeemu kweezo ezaafuna ettaka mu ngeri eriko akabuuzo.

University eno, yakomekereza efunye yiika 14 mu ngeri y’olukujjukujju okusinziira ku alipoota yakakiiko ka COSASE, era ettaka lyeyafuna lyeryazimbibwako ssemadduuka owa ARENA MALL.

Alipoota y’akakiiko ka parliament kano era kakinoogaanyizza nti nnanyini Mestil hotel esangibwa e Nsambya,nayo ettaka kweri liriko akabuuzq.

Ebiwandiiko biraga nti yafuna liizi ya myaka 10 gyeyaali asoose okuweebwa, nazzibwa ku myaka 49 olwo mu bbanga ettono ddala nga liizi tenatambulako wadde ebbanga, neyongerwayo okutuuka ku myaka 99.

Talina wadde obusuulu bweyasasula obwemyaka 89 egyeyongeramu, okuva mu myaka 10 gyeyasooka okuweebwa.

Kati akakiiko kalagidde nti abakulu mu kakiiko kebyettaka abaali mu vvulugu ono bakangavvulwe, olwokugaba ettaka lya government mu bumenyi bw’amateeka.

Ensimbi obuwumbi 69 obwava mu kutunda ettaka ly’eggaali y’omukka, akakiiko kalagidde ministry yebyensimbi ezikwate eziwe ekitongole kino ekyo nti kubanga okuva ettaka lweryatundibwa ekitongole tekizifunanga.

Akakiiko ka palament kano era kabuulidde parliament nti waliwo ebyapa ebirala bingi ebyagabibwa mu bumenyi bw’amateeka ku ttaka lyeggaali y’omukka , era kalagidde bisazibwemu.

Kalagidde nti n’obukiiko bwa district obwagaba ebyapa ebyo bukangavvulwe.

Parliament era alagidde kaliisoliiso wa gavument okunonyereza ku ngeri abamu ku bantu abatwala ettaka lyegaali y’omukka gyebaalifunamu.

Alipoota eno, palament egisembye, neewa government ebbanga eritasuka myezi 6, okutwalayo alipoota ekwata ku binaaba bisiddwa mu nkola nga parliament bwerambise mu alipokta eno.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Prof.Livingstone Luboobi eyali Vice Chancellor wa Makerere University kitalo -1944 -2025
  • Abaaniriza abagenyi mu Buganda babanguddwa ku ngeri y’okwongera obukugu mu mulimu gwabwe nga bettanira enkola za technology
  • Parliament etandise okunoonyereza ku mutemwa gw’ensimbi omutuufu Obwakabaka bwa Buganda bwegubanja Government ya Uganda
  •  Omutendesi wa Ssingo Hamuza Lutalo asuddewo omulimu – tenawangulayo mupiira mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2025
  • Abdallah Mubiru aweereddwa endagaano ya myaka 2 ng’atendeka Gaddafi FC

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist