Museveni agambye nti amagye ga government ezasooka genyigira nnyo mu bikolwa ebyóbulyake nóbukenuzi saako okutulugunya abantu, ekyaviirako bannansi okwetamwa abajaasi.
Alabudde amagye ga UPDF obutagezaako kwenyigira mu bikolwa ebyo, byagambye nti bimuwunyira zziizi.
Mu ngeri yeemu abalagidde okukola ebikwekweto okufuuza abantu abesenza mu ntobazi, nti bebamu ku bavuddeko okwonoona obutonde bwénsi.
President Museven atuuse ku kisaawe e Kakyeka ewategekeddwa emikolo emikulu egyókujjukira emyaka 42 egya Terehe sita, ku saawa mukaaga n’eddakiika 50, ng’atandise nakulambula nyiriri z’abasirikale, ne banaddiini okusabira omukolo.
Eggye ya UPDF lijaguzza emyaka 42 bukyanga balwanyi ba NRA balumba enkambi ye Kabamba mu district y’e Mubende nga 06 February 1981, mu lutalo olwamaamulako government ya Milton Obote olwamala emyaka etaano.
Olutalo luno lwaduumirwa Yoweri Kaguta Museven, nga kati ye President wéggwanga asiimiddwa olwaleero náweebwa omudaali ogusingayo ekitiibwa ogwa Katonga Star.
Omudaali guno gumwambaziddwa ssaabalamuzi Alphonse Owinyi Dollo.
Abalala abasiimiddwa nebawebwa emidaali kuliko Caleb Akandwanaho , Gen.Ivan koreta, Brig. Steven Kiggundu, Brig. Gen.Deus Sande n’abalala.
Amawanga okuli Mali, Somalia, South Africa , Burundi námalala gaweerezza ababaka mu mukolo guno.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius