President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, alabudde abaazirwanako okukomya okukaaba n’okusuubira okuweebwa obuwebwa, nti wabula beyambise enkola za government eziriwo okwekulakulanya.
President Museveni, agamba nti NRM, yalina ebigendererwa 10, okuli enkulakulana, okufunira banna Uganda emirimu, okutumbula ebyamakolero, obutale, ebyobulambuzi, ebyobulimi, okulwanyisa enguzi n’okuteekawo enkola ya demokulasiya owekimemmette, era nti byakyataddeko essira okubituukiriza.
Obubaka buno abutisse ssaabaminister, Robinah Musaafiri Nabbanja, ku mikolo gy’okujjukira abazira b’eggwanga n’okusiima abaliko eby’omuwendo byebakoledde eggwanga, ku mikolo egiyindidde e Kololo.
President Museven agambye nti bwakubamu tooki alaba nti government ye etambulidde ddala bulungi, kyokka naasaba abantu naabazirwanako, okukozesa enkola ya parish development model, okwekulakulanya bave mu kukaaba obwavu obusukiridde,n’okulinda government okubawa sente mu mpeke.
Mwami Museveni mu bubakwe era ategezezza nti banna Uganda, basanidde okwongera okuwagira entekateeka za Uganda okukola emikago naamawanga amalala, nti kuba kyekigenda okuyambako mu kutumbula n’okufunira Uganda obutale bwensi yonna.
Jim Muhwezi, minister w’obutebenkevu asabye abalwanyi abawumudde okufuna eby’okukola baleme okwenyigira mu bikolwa ebyobulebe eri government.
Minister avunanyizibwa ku nsonga z’akanyigo ke Luweero, Alice Kaboyo, agambye nti abantu abasoba mu 6,800 bebakawebwa akasiimo olw’ebyo byebaakola okuleeta government eno mu buyinza.
Hajji Ediriisa Ssenduga, ssentebe waabazirwanako mu kanyigo ke Luweero, avumiridde ekitta abantu, okusiiwuka kwempisa mu basirikale, ekizibu kyenguzi ekyeyongedde mu ggwanga ensangi zino, nagamba nti kyetaagisa amannya g’abalyi b’enguzi gabeere nga gaalangirirwa mu lwatu, enguzi ekendeereko.
Maj Gen John Yigumba, nga yakulembeddemu okusoma amannya g’abantu abakwasiddwa emidaali,agambye nti president Museveni mu buyinza obumuweebwa ssemateeka weggwanga, yasazeewo okuwa abantu 82 emidaali egy’abazira okubasiima obuwereza nga kuno kuliko egya Civilian National independence medal, abantu 34, Nalubaale medal abantu 17, abaweerezza mu maggye 5.
Waliwo omutendera gwemidaali eri abo abalwana mu lutalo lwa kanyigo ke Luweero 18, sso nga waliwo naabakoledde eggwanga emirimu egyenjawulo bali 24.
Saabaminister Nabbanja, yabakwasizza emidaala egyo.
Uganda ekuzizza olunaku lwabazira olw’omulundi ogwe 21 okuva mu mwaka gwa 2001, parliament lweyayisa etteeka erikakasa nti buli nga 9 June, Uganda yakukuza olunaku luno okujjukira abazira abaaafira mu nsiko mu lutalo olwekiyeekera olwakulemberwamu aba NRA olwakomekerezebwa nga 26 January 1986.
Mu kusooka nga tanaba kwetaba ku mikolo gino, ssaabaminister Nabbanja, ku lwa president atadde ekimuli ku ntaana yeyali president wa Uganda, Prof Yusuf Lule, eyaziikibwa ku kisaawe kino, ng’akabonero akokumujjukira obuzira n’obuwerezabwe eri eggwanga lye.
Ssabaminister Nabbanja era yalambudde omwoleso n’emirimu ejikolebwa abakyala naabaana baabaaliko abasirikale.