President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni alabudde abantu abakyaganye okwenyigira mu nteekateeka za government ez’enkulaakulana nti bano bakusigalira emabega teri agenda kubalinda.
President Museveni asinzidde Mbiriizi mu district ye Lwengo, ku mukolo ogw’okusonderako ensimbi ez’okuzimba ekitebe ky’obusiraamu mu district eyo n’okuzimba eddwaliro ly’obusiramu
Museveni agambye nti okuva emabega abantu bangi bazze bawakanya enteekateeka za NRM,nti naye abazigondede bagagawadde nebafuna ensimbi ezibafudde kyebali.
Alagidde abakulembeze b’ekibiina kya NRM okugenda mu buli maka batandiike okulondoola ebantu abaganyudwa mu nteekateeka ya Parish Developmenti Model.
Gen Yoweri Kaguta Museveni mungeri yemu alabudde abakyasasuza abaana ensimbi mu masomero ga government nti bakikomye, naalabula nebanna Uganda okukomya okuzaala abaana bebatasobola kulabirira.
Minster w’ebyokwerinda Vicent Bamulangaki Ssempijja yebaziza Presidenti olw’okugatta banna Uganda nga ayita munzikiriza zabwe ez’eddiini.
Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje awadde ensonga 6 zagambye nti president Museveni zakoze okukyuusa eggwanga lino,ono agambye nti ebyobulamu mu ggwanga birungi ddala,ebyenjigiriza abitumbudde ,ebyokwerinda binywevu,aggye abantu mu bwavu nga buli munansi yandibadde abyenyumiririzaamu.
Kibuule Ismail District Khath wa Lwengo yebaziza omukulembeze we ggwanga olwentekateeka zeyaleeta ezikulakulanya eggwanga nadala eza Parish Developmenti Model .
Ono agambye nti n’amasomero agazimbiddwa mu Lwengo era nti gayambye abasiramu bangi basomye mu kiseera kino.
Ssentebe wa district ye Lwengo Ibrahim Kitatta ategezeza omukulembeze w’eggwanga nti waliwo abanene mu kibiina abamulwanyisa atenga alina kyakoze mu kukulakulanya ekibiina kya NRM e Lwengo
Kitatta ategeezezza President Musevent nti entalo weziva kwekubanga yagoba akakiiko akaali kagaba emirimu ku district ye Lwengo naye nga batunda mitunde mu bantu,ate n’okwogera ku bubbi bwe ttaka mu Lwengo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif