President Yoweri Kaguta Museveni alabudde abakulembeze mu Africa okubeera abegendereza n’obutapapira kumala gasalawo ku nsonga ezikwata ku mawanga gabwe.
Museven abadde Buhuka -Kyangwali mu District ye Kikuube e Bunyoro, ngátongoza omulimu gw’okusima amafuta ga Uganda ogukulembeddwamu kampuni ya CNOOC.
Museveni awadde ekyokulabirako nti bweyali yakakwat obuyinza bwéggwanga lino Uganda mu 1986, kampuni z’amafuta zaamutuukirira ku nsonga z’amafuta g’e Bunyoro naye nazigoba, nga ayagala okusooka okwetegereza mu bujjuvu ebikwata ku mafuta gano nga tanasalawo.
Mungeri yemu President Museveni asinzidde mu District ye Kikuube neyewera okukangavula bonna abesomye okumalawo ebibira omuli Bugoma forest nti wakubakwata bavunaanibwe
Uganda yazuula amafuta mu bitundu ebyetooleodde ennyanja Mutta nzige mu Bunyoro, era wazze wabaawo okukubagana empawa ku mafuta ago, nga n’omwaka oguwedde parliament ya Mawanga ga Bulaaya yatuula n’esimbira ekkuuli okuzimba omudumu gwa mafuta okuva mu Uganda okutuuka e Tanga mu Tanzania, ngégamba nti gwakwonoona obutonde bwénsi, saako nókulinnyirira eddembe lyábantu naddala ba nnyini ttaka mwegugenda okuyita.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius