President Yoweri Kaguta Museven atonedde omulabirizi omuggya ow’e Mukono emmotoka kapyata kika kya Prado, emuyambeko ku mirimu gy’okusumba endiga za Katonda.
Emmotoka eno omulabirizi Enos Kitto Kagodo emukwasiddwa omumyuka wa president Rtd Gen. Jesca Alupo, ku mukolo gw’okumutuuza oguyindidde ku kisaawe ky’essomero kya Bishop SS.
Mu bubaka bwatisse omumyukawe, president Museven asabye bannaddiini okwongera amaanyi mu njiri y’ebyenkulakulana, okulwanyisa obwavu n’enjala mu maka.
Ku mukolo gwe gumu Obwakabaka wa Buganda bukiikiriddwa omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, asabye omulabirizi omuggya okwongera okukolegana obulungi n’obwakabaka okusitula abavubuka naddala abali ku bizinga.
Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu naye asabye omulabirizi Kagodo okutwala mu maaso enkulakulana ezirese ziteekeddwawo omulabirizi awummudde James William Ssebaggala, saako okulwanyisa omukwano ogw’ebikukujju ogwongera okusensera eggwanga.
Omulabirizi Kagodo alambuludde ebintu byasuubira okutandikirako, omuli okukyusa lutikko y’e Mukono, okuyambako abaana b’abaweereza okusoma, n’ebirala.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher