President wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni alabudde akola nga governor wa bank enkulu eya Uganda, Dr Ating-Ego Micheal, n’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’ensimbi Ramathan Ggoobi okulabira ku mugenzi Keith Muhakanizi okutereeza ebyenfuna by’eggwanga.
President Museveni abadde Kololo ku mukolo ogw’okusabira omwoyo gw’abadde omuteeisteesi omukulu owa wofiisi ya Ssabaminisita, Keith Muhakanizi, eyafiira mu Italy mu kibuga Milan gyeyali yatwalibwa okufuna obujjanjabi.
Museveni agambye nti abagenzi Keith Muhakanizi eyaliko era omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi okumala ebbanga eggwanvu, ne Emmanuel Mutebire eyali governor wa bank of Uganda babadde basaale mu kulambika ebyenfuna by’eggwanga okuviira ddala mu myaka gya 2000 nga gyakatandika okutuusa webafiiridde.
Asabye abaana n’omukyala w’omugenzi okusigala nga b’esimbu nga Keith Muhakanizi bwabadde, nasuubiza okubakwasizako w’ekyetagisa.
Ssabaminisita wa Uganda, Robina Musaafiri Nabbanja, naye agambyr nti wofiisi ye yakusubwa obukulembeze bwa Keith Muhakanizi, abadde omukozi ayagala amazima awatali kwekwekerera muntu.
Mungeri yeemu minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija, eyakolako n’omugenzi okumala ebbanga, agambye nti yakola ebintu bingi okulaba nti Uganda ekulakulana okutuuka weeri.
Ku lw’abateesiteesi abakulu mu bitongore eby’enjawulo nga bakulembeddwamu Ruth Nakyobe, omuteesiteesi omukulu mu ministry yaabakozi ba government bagambye nti Muhakanzi, y’emuntu abadde anywerera ku kigambo kye.
Keith Muhakanizi yazalibwa nga 24-November 1957 mu district ye Rukungiri, agenze okufa ng’alese abaana basatu.
Agenda kuziikibwa mu district ye Lyantonde ku kyalo Lwamayingo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis