President Yoweri Kaguta Museveni ataddewo akakiiko k’abantu 8, okunoonyereza n’okwekennenya enkayana z’ettaka lye Apaa wakati wa Madi be Acholi ku nsalo ye Amuru ne Adjuman omufiiridde n’abantu.
Enkayana zino zizze zifiiramu abantu abawerako olw’okulwanagana okubaddewo.
Abali ku kakiiko kuliko eyali Ssaabalamuzi weggwanga Bart Magunda Katureebe ye ssentebe.
Ba memba kuliko omulamuzi Alice Mpagi Bahigaine, Omulamuzi Steven George Engwau.
Abalala kuliko Joyce Gunze Habaasa ne Dr Fred Henry Bateganya songa George Omunyokol ye munnamateeka omukulu ow’akakiiko , Omuwandiisi ye Imelda Adong.
Enkayana zino zaalinnya enkandaggo mu mwaka gwa 2017, oluvannyuma lwa government okutondawo District ye Amuru okuva ku Adjuman.
Amuru eri mu kitundu kye Acholi ate district ye Adjuman ya kitundu kyab’Amadi
Enkaayana zeyongera wakati wa ba Choli ne N’aba Madi nga buli luuyi lukayanira ettaka erya Apaa eryawula District zombi.
Minister omubeezi owe Nsonga z’omunda mu gwanga Gen David Muhoozi gyebuvuddeko yayanjula Alipoota ku ttaka lino, eraga nti bannabyabufuzi bebaviirako abantu babulijjo okulwanagana, era n’asaba government esooke egira esalako obuweereza bwayo mu kitundu kino kubanga kifuuse kattiro kennyini eri abantu.
President Museven bw’abadde asisinkanye abakiise ba kakiiko kano mu maka g’obwa President e Ntebe, ategezezza nti bakoze ekisoboka okuyita mu makubo gonna okugonjoola ensonga eno naye bikyagaanye.
Wano weyasinzidde okutondawo akakiiko kano aka Judicial commission of inquiry okuzuula ekituufu n’okuyambako government okumalawo okusika omuguwa mu kitundu kye Apaa
Akakiiko akalina amaanyi agenkanankana ne kooti, era kaveeyo ne Alipoota enzijjuvu.
Ensisinkano eno, yetabiddwamu ne minister wa ssemateeka w’eggwanga n’essiga eddamuzi era president wa DP Norbert Mao.#
.