President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni kyadaaki atadde omukono ku tteeka eriwera omuze gwómukwano ogwábantu abékikula ekimu.
Etteeka lino parliament yaddamu nériyisa ku ntandikwa yómwezi gwa May 2023, oluvannyuma lwa president okusooka okulizza likolebwemu ennoongosereza.
Etteeka lino lirimu ebibonerezo ebikakali eri abeenyigira mu bufumbo bwekikula ekimu ,omuli okusibwa amayisa eri abantu abakaka abaana abato , abantu abaliko obulemu oba bebalinako obuvunanyizibwa nebatuusaako obuliisa maanyi bwébisiyaga nebabawalaga endwadde enkambwe, okuli mukenenya nendala (Aggravated Homosexuality).
Etteeka lyerimu lino, lisaawo ekibonerezo kyakusibwa myaka 20 mu nkomyo eri abantu abenyigira mu mukwano ogwekikula ekimu nábatumbula omuze guno mu ggwanga.
Kampuni yonna eyeewandiisa mu mateeka okugeza, emikutu gyamawulire okuli TV, Radio ,emikutu gyempuliziganya nendala ezenyigira mu kutumbula omukwano ogw’ebikukujju ,zakutanzibwa engassi ya kawumbi kalamba singa kkooti egisingisa omusango.
Omwana yenna omuto Ali wansi wemyaka 18 ayenyigira mu muze gw’ebisiyaga wakusibwa emyaka 3 mu bifo ewasibibwa abaana abato ezimanyiddwanga remand homes.
Eyenyigira mu bikolwa by’okusikiriza abaana abato okubayingiza mu muze gw’obulyi bwebisiyaga ekibonerezo asibwa emyaka 10 mu nkomyo
Okufumbirwa mu bufumbo obwekikula ekimu, okubeera ku mukolo gw’obufumbo buno ,oba munnaddiini yenna anagatta abantu mu bufumbo bwekikula ekimu, wakusibwa emyaka 10 mu nkomyo.
Sipiika wa parliament Annet Anita Among yebaziza president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni olwokuteeka omukono ku tteeka lino, lyagambye nti ekigendererwa kyalyo kwekutumbula n’okunyweeza empisa z’eggwanga lino.
Etteeka lino, lirindiridde minister w’empisa n’obuntu bulamu okufulumya okulambika okwenjawulo, ebitongole ebigenda okuliteekesa munkola kwebinaagoberera.
President Museveni era atadde omukuno ku mateeka amalala okuli erirungamya entambuza y’obutale mu ggwanga erya market Bill, etteeka lya The museum and monuments bill erirungamya amakaddiyirizo n’ebibumbe, etteeka lyebyobulamu erya the public health law, Microfinance Deposits taking Institutions Amendment bill 2022, ne the Law Reform (Miscellaneous ammendments) Act 2023.