President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atadde omukono ku mabago g’amateeka 8 agalungamya eby’ensimbi n’emisolo mu ggwanga, agagenda okusobozesa enkola ya bank okuwola ensimbi ezitaliiko magoba emanyiddwanga Islamic banking.
Amabago g’amateeka president gataddeko omukono kuliko erya Financial institutions Amendment bill 2023 erirungamya entambuza y’emirimu mu bank, erya Tax Income Amendment Bill 2023 ,Value Added Tax Amendment bill 2023, The Tax procedures Amendment bill 2023, Stamp Duty Amendment bill 2023 namalala.
Amabago g’amateeka gano, parliament yagayisa mu June 2023 n’ekigendererwa eky’okusobozesa enkola ya Islamic banking okussibwa mu nkola wano mu Uganda.
Mu nkola eya Islamic banking ,bank zakuwolanga ensimbi ezitaliiko magoba, wabula bank neba customer baazo abawoleddwa ensimbi bakugabananga amabagoba oba okufiirizibwa mu muwendo ogunaaba gukaanyiziddwako, mu ndagaano y’okwewola ensimbi ezo.
Enkola ya Islamic banking etambulira ku mateeka gobuyisiraamu aga Islamic Shariah law etakkiriza mu kuwola nsimbi eziriko amagoba.#