President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni azzeemu okweyama nti government yakwongera okukolaganira awamu n’ekkanisa okutumbula enkulakulana y’ekijjukizo ky’e Namugongo, kyongere okusakira Uganda ensimbi mu by’obulambuzi n’okuteeka eggwanga ku katale k’ensi yonna.
President Museveni bino abiyisizza mu bubaka bwatisse minister w’ebyamasanyalaze n’obugagga obw’omuttaka, Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu, mu kusaba kw’okujjukira eyali Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda ow’omukaaga, omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo, okutegekeddwa ku kijjukizo ky’abajulizi e Namugongo ekya Uganda Martyrs Anglican Site.
President Museveni agambye nti obuwumbi 21 bwebwakakozesebwa mu kukulakulanya ekifo kino ekyabakulisitaayo ku mutendera ogusoose.
Jjaja w’obusiraamu omulangira, Kassim Nakibinge, agambye nti omugenzi yalina enkolagana nnene n’enzikiriza ez’enjawulo awatali kusosola era omuntu eyali ayagaliza n’okukola emikwano.
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu bwabadde akulembeddemu okubuulira, atenderezza nnyo eyali ssabalabirizi omugenzi emeritus Dr Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo, olwomukwano gweyalina eri abantu.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okukulakulanya ekijjukizo kyabajulizi ekye Namugongo, omulabirizi wa Central Buganda eyawumula, Jackson Matovu, agambye nti bamalirizza okuzimba ekkadiyirizo, ng’essaawa yonna batandika ku bifo ebirala ebisigadde.
Amos Wekesa, omukugu mu byobulambuzi, nga y’abadde omwogezi owenjawulo mu kusaba kuno, agambye nti ekijjukizo kino kisaanidde okwongerwamu amaanyi kuba kigenda kusakira Uganda abalambuzi abawera.
Agambye nti mu kiseera kino Uganda efuna trillion za dollar 9 n’obuwumbi 600, sso nga ssinga ekijjukizo kyábajulizi kinaaba kituuse ku mutendera okwetaagisa, mu myaka 10 ejijja, kyakuyambako okusakira Uganda trillion za dollar 16.
Omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo, yali Ssaabalabirizi okuva nga 1995 okutuusa 2004, era nga yeyadirira Ssabalabirizi Yona Okoth kubwa Ssabalabirizi ate Ssabalabirizi Henry Luke Orombi yeyamuddira mu bigere.
Bisakiddwa: Ddungu Davis