President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni awadde ekisonyiwo abasibe 13 era abakkirizza bayimbulwe ,olw’embeera y’obulamu bwabwe eserebye
Abasonyiyiddwa kuliko David Chandia Jamwa eyaliko ssenkulu w’ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF ,era omulamuzi eyali akulira kkooti ewozesa abakenuzi John Bosco Katutsi yamusalira emyaka 12 mu nkomyo mu mwaka gwa 2011, oluvannyuma lwokufiiriza eggwanga obuwumbi obusoba mu 3.
Abalala abaweereddwa ekisonyiwo kuliko Owino Jackson abadde avunaanibwa gwa kutta muntu, era ng’ekibonerezo ekyali kyamuweebwa kyali kya myaka Mukaaga.
Abalala abasibe 11 babadde ku misango gyakuganza baana batanetuuka,kuliko Ntale Vincent yali yasalirwa emyaka 4 n’ekitundu, Grabo Nelson yasalirwa emyaka 20, Omirambe James yasalirwa emyaka 6, Leku Francis emyaka 3.
Kabila Joseph yasibwa emyaka 3,
Yoha Ayitia emyaka 4, Kato Fred abadde ku myaka 7,Okello Zakaria abadde ku kibonerezo kya myaka 5, Nono Joseph naye emyaka 5, Ouma Mesearch John abadde ku 7 , Aliama Samuel abadde yasalibwa okusibwa emyaka 3.
Omwogezi w’ekitongole ky’Amakomera Frank Baine , ategeezezza nti bonna abaweereddwa ekisonyiwo baakuyimbulwa okusinziira ku misango gyebali bazza, ng’ekitongole kyekigenda okusalawo emitendera mwebagenda okuyimbulwa.
Bisakiddwa: Kato Denis