President wa Uganda era ssentebe wa NRM mu ggwanga Yoweri Kaguta Museven asiibye atalaaga ebitundu bye Dokolo okunoonyeza omuntu we Adongo Janet Rose Elau akalulu.
President Museven asinzidde ku ssomero lye Amatiburu primary School mu gombolola ye Okwangodul mu district ye Dokolo, n’abategeeza nti emyaka egisoba mu 20 ekitundu ekyo kibaddemu muntu w’oludda oluganya government, era nti enkola eno erina okukyusibwa.
Yebazizza abakyala abalala aba NRM abaavudde mu lw’okaano nebalekera Adongo Janet avuganye, n’agamba nti buno buwanguzi bunene ekibiina bwekyatuuseeko obutamala budde mu kamyufu, atr n’okulaga obwetowaze n’obuwlize eri ekibiina.
Museven akubirizza abantu bonna okwettanira enkola government gyetembeeta eya Parish Development Model, gy’agambye nti eyongedde okuvaamu ebibala, naddala eri abantu abafaayo okuwuliriza.
Abantu 7 bebavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa district ye Dokolo, mu kalulu akagenda okukubibwa nga 21 March,2024. okulondako anadda mu bigere by’omugenzi Cecilia ogwal eya owa FDC.
Abalala abavuganya mu kalulu k’okulonda omubaka omukyala owe Dokolo ye Alwoc Austin Ogwal Rosemary owa FDC era muwala w’omugenzi Cecilia Ogwal, Aguti Sarah owa UPC , Akullo Esther-Obot atalina kibiina , Ageno Harriet owa NUP saako Lalam Grace Hanna atalina kibiina.
Abakulembeze b’ebibiina ebirala okuli owa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, owa FDC Patrick Amuriat, owa UPC Jimmy James Akena ennaku eziyise nabo babadde mu kitundu ekyo nga bakuyega abalonzi okuwa abantu babwe akalulu.#