President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni, asiibudde omukulembeze w’enonno His Majesty Muswati III okuva mu Swaziland,ku bugenyi bw’amazeeko ennaku 3 wano mu Uganda.
Obugenyi buno Mswat bwabaddeko yayitibwa omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Mswati nga tanasiibula wabaddewo ensisinkano eyenjawulo mu maka gwobwa president Entebbe.
Yetabiddwamu ne mukyala we gweyatambula naye Inkhosikati Make Lamashwama, saako abakungu mu government ya wano abawerako , nga bano bogedde ku ensonga nyingi omuli ne z’enkulakulana.
Mu ensisinkano eno Muswati abuulidde president Museveni, nti obugenyi bwabaddeko ayize ebintu bingi byagenda okweyambisa okwongera okukyuusa embeera z’abantu bakulembera, naddala kubugenya bweyabaddeko mu bwakyabazinga bwa Busoga, saako kampuni ekola mmotoka z’amasanyalaze eya Kiira Vehicle plant.
Mswati agambye nti emmotoka z’amasanyalaze zalyabye nga zikolebwa, kibadde kyakuyiga kinene, era wakukigabanako nabantube ngazeeyo ku butaka.
President Museveni yebazizza Mswati okukkiriza okukyalako mu Uganda, era amusuubizza okumuweereza abakugu okumuteera kamera zebyokwerinda munsi ye zagambye nti bazeetaaga.
Ku kisaawe Entebbe, Mswati asiibuddwa minister w’ensonga zobwa president Milly Babalanda, minister w’ebyetambula Katumba Wamala, minister w’ensonga z’amawanga amalala Okello Oryem nabakungu abalala bangi.#