President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni anenyezza abamu ku baaliko abakulembeze b’eggwanga lya Democratic Republic of Congo abaasooka, nti bebaaviirirako abayeekera ba ADF, okwongera okwegazaanyiza mu Congo n’okubonyabonya amawanga agagiriraanye.
President Museveni mukwogerako eri eggwanga ku bikwata ku by’okwerinda bye ggwanga, agambye nti abayeekera ba ADF okwegazaanyiza mu DR Congo, kyava ku bakulembeze ba DR Congo abaagana okukolagana ne Uganda okulwanyisa abayeekera bano, nga bwekyakolebwa ku bayeekera ba Joseph Kony
President Museveni agambye nti okuva Uganda lweyatandikawo enkolagana ne government ya Congo ekulemberwa President Kishekedi, basobodde okulwanyisa abayeekera ba ADF n’okubamala amaanyi.
President Museveni asabye banna Uganda okwongera okuba obulindaala n’okwewala okukolagana naabantu abenjawulo bebatategeera mu bitundu byabwe, n’okwekengera enneyisa y’abantu etategeerekeka.
President Museveni aliko abakyala baaleese okuwa obujulizi ku mbeera gyebaayitamu nga bakolagana n’abayeekera ba ADF.
Nansubuga Mariam, omu ku bawala nga kati aweza emyaka 20 nga yakwatibwa naatwalibwa mu buyeekera bwa ADF nga wa myaka 8, agambye nti emyaka gyonna mu nsiko abadde mu kubonaabona, era yeebazizza government n’amagye ga UPDF okubanunulayo.
Abawala abalala ababadde boogera olulimi oluswayiri nabo bannyonnyodde embeera gyebayitamu nga bali mu nsiko mu bayeekera ba ADF gyebaali babawambidde, nga n’abamu bagamba nti olukwe lw’okubatwala mu nsiko lwalukibwa bazadde babwe.
Mu ngeri yeemu President Museven anenyezza agamu ku mawanga g’abazungu agabadde gawa Uganda obuyambi, nti okusaawo obukwakkulizo bw’agambye nti sibakubugondera, nga bagenderera okulumya Uganda n’okugimma obuyambi, nti olw’okuba yagaana okubiita n’okutembeeta ebikolwa eby’omukwano ogw’ebikukujju.
Bisakiddwa: Ddungu Davis