Amaka g’obwa president gazeemu nate okulumbibwa ekirwadde kya Covid 19, president Yoweri Kaguta Museveni alangiridde nti mukyalawe era minister webyenjigiriza n’emizannyo ekirwadde Kya covid19 kyamukutte.
President Museveni ng’ayita ku kibanja kye ekya X abanji kyebamanyi nga Twitter, alangiridde nti ku lunaku lwa ssekukulu, oluvanyuma lw’okulya ekyemisana, mukyala we yatandika okusiiyiibwa n’okukolokootebwa kw’emimiro n’okulumwa omutwe, abasawo kwekumwekebejja mu bwangu n’azuulibwa nga yali talina covid 19.
Museveni agambye nti wabula sampolo endala zaatwaalibwa mu ddwaliro lye Mbarara ,gyekyakakasibwa nti ekirwadde Kya covid19 kyali kimubase era bwatyo neyeyawula kubalala ngali mu maka gabwe e Rwakitura gyebaagenda mu nnaku enkulu , gy’akyekuumidde.
Museveni agambye nti wadde ennaku eziyise yabadde ne mukyala we nga batambulira wamu, era nga basula wamu ye teyakwatiddwa kirwadde.
Kinnajjukirwa nti mu mwezi gwa May omwaka guno 2023, Museveni naye ekirwadde Kya covid19 kyamukwata era yamala ennaku nga yeyawudde ku balala nga bwafuna obujanjabi.
Amaka g’obwapresident gaasaawo enkola eri abantu bonna abalina okusemberera omukulembeze w’eggwanga, oba okubeera ku mikolo kwali, bateekeddwa okusooka okukeberebwa ekirwadde kya Covid 19.#