President Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama nti omukyala musiga nsimbi Enrica Pinetti government gweyakola naye endagaano ey’emmwanyi, nti kituufu teyalina bukugu bwonna mu nsonga zemmwanyi, ye nga president w’eggwanga yayamusaba okwennyigira mu by’emmwanyi.
President agambye nti yayagala okukolegana naye nti kubanga omukyala oyo alina emikwano mingi mu nsi endala,beyali ayagala nabo abaleete bagatte omutindo ku mmwanyi za Uganda.
Endagaano eno government gyeyakola ne musiga nsimbi ono owa kampuni ya Vinci coffee company, yayogeza bannauganda ebikankana, era gyebyagwera nga parliament eginoonyerezaako , neesemba esazibwamu yonna.
President Museveni asinzidde ku kisaawe kyameefuga e Kololo mu kwogera kwe okutongole eri eggwanga, naagamba nti omukyala ono Enrica Pinetti mbu ye obukugu bwe buli mu bintu birala ng’okuzimba amalwaliiro nebirala naye ebyemwaanyi ye nga Museveni yeyabimusaamu, agende amuzuuliire akatale.
Omukyala ono yoomu Enrica Pinetti government gweyeewolera ensimbi trillion 1 nobuwumbi 400 okuzimba eddwaliro eryomulembe e Lubowa ku luguudo lwe Entebbe, neemuwa n’ettaka eryobwereere, wabula wadde ensimbi yazifuna, eddwaliro terizimbibwanga.
Yali yawebwa emyaka 2 libeere nga liwedde, wabula teritandikanga kuzimbibwa.
President Museveni yewuunyiza nti ku buwumbi bwa ddoola za America 460 eziva mu mmwaanyi ku katale kensi yonna, ekyennaku amawanga agalima emmwaanyi zifunako obuwumbi bwa ddoola za America 25 bwokka olw’obutazigattako mutindo.
Akyoomedde nnyo bannansi aboogerera omukyala ono Enrica Pinette, bano abayise balabe ba ggwanga, abakolera abazungu.
,Asuubizza nti agenda kufuna obudde mu kiseera ekitali kyawala asisinkane abali mu busuubuzi bw’emwaanyi abanyonyole ensonga zino ezemwaanyi.
Ku mbeera yebyenfuna ebyekannama enkya neggulo, esuza bannansi nga tebeebase olw’ebbeeyi y’ebyamaguzi eyeyongera buli lunaku, agambye nti government terina suubi lyakusala ku misolo nga bwebabadde bamusaba.
Agambye nti government esuubi kati eririma mu kuteeka amaanyi mu kulima ebinazi ebivaamu buto okukola butto amala, n’okwogerezeganya n’amawanga amalala agakola ebintu bino awamu nokukubiriza bannansi okwongera okwenyigira mu kukola ebintu ebikozesebwa mu bulamu bwabulijjo ebimala.
Museveni azeemu okukinogaanyi nti engano bweeba ebuze, ekiyinza okukolebwa mu kiseera kino kwekukozesa ensaano eva mu muwogo namatooke okukola emigaati,ng’embeera bwetereera.
Ku nsonga yolutalo, wakati Russia ne Ukraine , agambye nti Uganda mu nkukutu yawa dda endowooza yaayo, era amawanga gombi gakimanyi, naagamba nti wabula mu kiseera ekijja, Uganda ejja kuziteeka mu lwatu zimanyibwe neweyimiridde ku lutalo luno.
Omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni agambye nti kyekiseera ensi zobuvanjuba bwa Africa zikube ttooki mu bubinja bwabayeekera n’abatujju obulwaanira mu mawanga gano, okumanya ebigendererwa byabwo ebituufu, nengeri yokubwangangamu ensi zinnamukago bweziba zakusigala nga zirumu obutebenkevu.
Ebigambo bino bijjidde mu kiseera ngensi ya DR congo tekyalinnya mu kimu ne Rwanda, DR Congo bweyalumiriza Rwanda okuvugirira abayekera ba M23 abajojobya DR Congo.
Ku nsonga yobulyi bwenguzi obufumbekedde mu ggwanga lino, Museveni asabye ababaka naabo abali mu gwokulwanyisa obulyi bwenguzi, baanike abalyi benguzi, ensi ebategeere.