President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni alagidde minister avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu bbanga lya wiiki 2 zokka aleete amateeka aganakoma ku bawozi b’ensimbi ezakazibwaako ez’embaata, okubakugira okubinika banna Uganda amagoba amangi ku nsimbi zebabawola.
Okusinziira ku nampala w’ababaka ba NRM, president alagidde minister w’ebyensimbi eddemu yekeneenye akawaayiro number 90 aka Tier 4 mu tteeka erifuga abawozi b’ensimbi erya Micro Finance and Money Lenders Act 2016, okuzuula oba ng’abawozi b’ensimbi tebanyigiriza bantu.
Kino kyekimu ku biteeso ebiyisiddwa mu nsisinkano y’ababaka ba parliament ey’akabondo ka NRM etudde mu maka ga President e Ntebbe.
Ekiteeso ekirala kisabye president Museven yetabe mu musomo gw’ababaka ba NRM ogugenda okuyindira e Kyankwanzi mu makati g’omwezi ogujja ogwa October 2023, ku mulamwa ogw’okwongera okubabangula okubeera abakulembeze abasaanidde.
Omwogezi wa kabondo ka babaka ba NRM Alex Brandon Kintu agambye nti era babaka ba kabondo ka NRM bakiriziganyizza okuwagira president Museven singa government enaaba ereese amateeka agalwanyisa enguzi naddala mu bakozi ba government
Bisakiddwa: Wasajja Mahad