President w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni alagidde Ministry y’ebyensimbi okufulumya ensimbi obuwumbi 6 eziwe ekitongole kya KCCA kisobole okukola ku binnya ebiri mu Kibuga Kampala
President ekiragiro kino akiweeredde mu maka g’obwa President Entebbe bw’abadde asisinkanye ekibinja ky’abakungu abavudde mu ggwanga lya Serbia.
President Museveni era alagidde olukiiko lwa ba Kansala ba KCCA bebaba bavunaanyizibwa kukuwa banna Kampala embalirira y’ebyo ebinaaba bikoleddwa okulongoosa ekibuga.
Ebiragiro bya President Museveni webigidde nga banaUganda bakaaba olw’ebinnya ebiyitiridde mu nguudo za Kampala, era nga baasalawo n’okutekawo omwoleso gw’ebifaananyi by’ebinnya bino nga bayita ku mutimbagano, ogwakulemberwamu Dr.James Spire Ssentongo.
Ku mukolo guno president Museven kwayisirizza ekiragiro ku binnya, government ya Uganda n’abakungu abavudde mu ggwanga lya Serbia batadde omukono ku ndagaano ey’okutumbula eby’obusubuuzi wakati w’amawanga abiri.
President Museveni era akkiriza nti wakugenda mu ggwanga lya Serbia okuggulawo ekifo ky’eby’obusubuzi ekya Uganda
Mu kiwendo kye kimu President Museveni alagidde Ministries ezenjawulo okuli Ministry ya ICT, ey’eby’obulamu, ey’ensonga ez’omunda mu ggwanga, ey’eby’obulambuzi n’ey’obutebenkevu okwekolamu akakiiko akalina okukola ku ngeri eggwanga gyeririna okwangangamu embeera y’obutyabaga.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico