President wa Uganda era omuduumizi w’ebitongole ebikuuma ddembe owokuntiko Gen Yoweri Kaguta Museveni alagidde Police okutandaawo police ezenjawulo okuviira ddala ku magombolola, mu districts eziri mu bitundu bye Karamoja.
Agamba nti kino kyakuyambako okunyweza eby’okwerinda n’okutangira ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebiri mu kitundu kino.
President Museven abadde Karamojja gyeyakubye enkambi era gyeyasisinkanidde abakulira eby’okwerinda okuva mu districts eziri mu Teso, Sebei, Bugisu ne Karamojabyonna,kutema empenda ez’okumalawo ebikolwa eby’obubbi bw’ente n’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebirala.
Ensisinkano eno ebadde ku Kapchorwa State Lodge yetabiddwamu abakulira eby’okwerinda okuli ba ISO, ba RDCS, abaddumizi ba Police n’amajje ssako n’abasirikale b’ekitongole ky’ebisolo ebyomunsiko ekya Uganda Wildlife Authority.
President Museveni alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okussa emisanvu mu nguudo ezisinga okuyisibwamu ente, era yasuubizza nti wakulagira Ssaabaminister Robinah Nabbanja akulemberemu okwogerezeganya n’abantu abenyigidde mu bikolwa eby’okubba ente z’abantu
Omumyuka wa President Jesca Alupo ategezeza nti bali basubira nti embeera eno ey’obubbi bw’ente yali egya kuggwawo mu bwangu, nti naye bisaasaanidde ne mu districts zabwe eziri mu Teso.
Amyuka omuduumizi w’amagye Lt Gen Peter Erweru ategezeza nti bakoze ebikwekweeto bingi okujja emmundu mu bantu, naye bangi bazikwese.
Obunyazi bw’ente bi lukya bweyengera e Kalamoja,obuviiriddeko n’abamu ku bakulembeze b’ekitundu okufa,nga babalanga okussa amaanyi kukulwanyisa omuze guno naddala abakulira egombolola.