President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni agambye nti entalo z’ettaka wakati w’abacholi n’aba Madi zikumibwamu omuliro bannabyabufuzi, balabudde nti ajja kubakolako.
President Museven abadde ku kisaawe kya Kawunda Grounds mu district ye Ggulu, gyeyetabidde kusaba okwenjawulo okumaze ennaku 4, ng’abatuuze bawanjagira Katonda okumalawo entalo z’ettaka ezongera okumaamira ekitundu zifiiriddemu n’abantu.
Okusaba kuno kwategekeddwa muwala wa president Pastor Patience Lwabwogo.
President Museven agambye nti mu kiseera kino okusoomoozebwa okuliwo mu Acholi, kukwata ku ntalo z’ettaka era n’asuubiza okukunogera eddagala, n’asaba abacholi basonyiwe government ye olw’ebyo ebikyagaanye.
President Museven alagidde akakiiko keyassaawo okwanguya okunoonyereza ku ntalo z’ettaka mu kitundu kye Apaa.
Akakiiko keyasaawo kaliko abantu 8, nga kalina okunoonyereza n’okwekennenya enkayana z’ettaka lye Apaa wakati wa Madi be Acholi ku nsalo ye Amuru ne Adjuman omufiiridde n’abantu.
Kakulirwa eyali Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Magunda Katureebe.
Enkayana zino zaalinnya enkandaggo mu mwaka gwa 2017, oluvannyuma lwa government okutondawo District ye Amuru okuva ku Adjuman.
Amuru eri mu kitundu kye Acholi ate district ye Adjuman ya kitundu kyab’Amadi
Enkaayana zeyongera wakati wa ba Choli ne N’aba Madi nga buli luuyi lukayanira ettaka erya Apaa eryawula District zombi.
Minister omubeezi owe Nsonga z’omunda mu gwanga Gen David Muhoozi gyebuvuddeko yayanjula Alipoota ku ttaka lino, eyaraga nti bannabyabufuzi bebaviirako abantu babulijjo okulwanagana.
Wano weyasiinziirw okutondawo akakiiko aka Judicial commission of inquiry okuzuula ekituufu n’okuyambako government okumalawo okusika omuguwa mu kitundu kye Apaa.
President Museven bw’abadde e Ggulu agambye nti bannabyabufuzi abanaazulibwa mu nkaayana zino, bakukubwa mu mbuga z’amateeka zibalamule.#
.